Okufukirira okw’amatondo
Ekisooka, funa empiira ezifukirira amazzi era okole ekitandaalo ekibaafu kisobole okubeeramu amazzi agaweza liita ng’abiri, era entobo y’ekibaafu erina okubeera ku buwanvu bwa mmita emu waggulu w’emmerezo okuwa amazzi amaanyi agagasindika era oyungeko empiira nga okuba ekituli mu ntobo y’ekibaafu okozese obuyungiro okugattako akalobo oluvannyuma oteekeko empiira.
Mu ngeri yeemu, kakasa nti akalobo kanywevu ku kitandaalo kwe katudde, ogatteko empiira ezisooka ku ezo ezifukirira mu nnimiro nga okozesa obuyungiro. Salako akatundu ku lupiira akaweza obuwanvu bwa ssentimmita bbiri n’ekitundu ofunye emirundi ebiri ekitundu ekisigadde, oteekeko akatundu k’osazeekoku lupiira lw’ofunyizzaako okukomya era okubikka olupiira. Bikka ku mazzi n’akagoye oyongere amazzi mu kibaafu, era olabe ebifo mw’ogenda okusimba endokwa.
Simamu ebinnya eby’okusimbamu era osimbemu endokwa ozibikke okutuukira ddala ku kikoola ekisooka okuva wansi, ofukirire nga waakasimbuliza nga okozesa ekidomola ekifukirira okwewala okukangibwa kw’okusimbuliza eri ebimera.
Ekisembayo, bikka kungulu era ofukirire ku makya n’olweggulo.