Omuddo ogulimibwa ebisolo; guno guba mmere y‘ebisolo era okusingira ddaala ewebwa nsolo ezirundibwa ewakka okuli ente,obumyu,endiga,embaalaasi ,enkoko, n‘embizi.Mulimu,ogulimibwa neguterekebwa,ebisigalira ku birime,emmere ekaziddwa ey‘ekika kya silage,emmere ekkatiddwa n‘eyempeke emmanyiddwa ng‘eyongera ekiriisa kya nitrogen mu ttaka.
Abalimi abasinga mu Kenya bakozesa omuddo ogulimiddwa okuliisa ensolo zabwe era omuddo guno gwawukana okusinzira ku bulungi bwagwo okuli ebirungo byeguba gulina okugeza nga ekya fibre ekiyamba mu kukuba emmere mu lubutto,n‘ okusinzira ku buwoomi. N‘olwekyo kirungi nnyo okukozesa ebipimo by‘omuddo eby‘enkanankana woba ng‘owa ebisolo byo ebirungo ebyetagisa.
Omuddo gw‘ebisolo
Omuddo ogulibwa ebisolo guyina ebika ebiwerako era nga muno mulimu,omuddo oguyitibwa sudan grass,omuddo ogwa desmodium,kasooli owa kiragala,omuwemba,omuddo oguyitibwa rod grass,ebimmera eby‘ongera ekirungo kya nitrogen mu ttaka,amalagala n‘omuddo oguyitibwa kikuyu grass.
Omuddo oguyitibwa Desmodiom gw‘ongera ekirungo kya nitrogen mu ttaka era gulimu ebiriisa ebiwerako okugeza ng‘ekizimba omubiri. Ate omuddo oguyitiibwa lucern nagwo gulimu ekiriisa ekizzimba omubiri .Omuddo ogubaaako emmere y‘empeke ng‘omuwemba ,n‘oguyitibwa sudan grass ebiseera ebisiinga omiddo gino wegitabulwa osobola okufuna mu emmere eyekika kya silage.
Ensimba n‘endabirira
Wetuba tusimba ebisagazi ,tuleka wo akabanga ka fuuti 2 ku 2 buli luttema era okuva ku buli kannya kotemye. Ate ku muddo oguyitibwa desmodium,oleka wo akabanga ka fuuti 1 kwemu ate lumonde ono avaako amalagala amalungi ennyo okuwa obuyana ng‘obujja ku mabeere akabanga bwa sentimita 45 ku 30 kekalekebwa wo.
Enima y‘omuddo ewanirirwa enkozesa y‘ekigimusa ekiyitibwa NPK(Nitrogen,Phosphorous ne Potassium.Nga beyambisa enkola y‘okusimba omuddo abalimi basobola okusala ku nsasaanya ye nsimbi ze basaamu olwo nebasobola okufuna mu ekiwera.
Okutabinkiriza omuddo
Abalimi bakubilirizibwa obutasimba omuddo gwa bikka bibiri wamu kubanga woba wotabiinkiriza omuddo ebimmera birwanira ebirungo olw‘obungi bw‘ebimera mu buli sikweya .Ebisagazi n‘omuddo oguyitibwa desmodium bikomerwako bisobole okudda mu okukula era gusobola okuwangaala okumala sizoni 8 ku 10 era nga gino gibeera myaka enna kwettaano.
Emigaso egiri mu muddo oguliisibwa by‘olunda gusinzira ku bigulimu okuli ekirisa ekizimba omubiri,ekirungo kya fibre ekiyamba ku nkuba y‘emmere mu lubutto,n‘okwesalirawo okuwa ensolo zo ebirungo byewandyagadde.
Weyongere okusoma ku kulima omuddo gw‘ebisolo okusobozesa abalunzi b‘ente z‘amatta okufuna amagoba– Ekitundu eky‘okubiri.