Omulabe w‘omulimi asinga gw‘emuddo ogw‘onoona ebirime kubanga guvuganya n‘ebirime nebikomekereza nga bikoze olw‘ebirisa ebitono.
Omuddo ogwonoona ebirime gubeera nnyo mu nnimiro era omulimi waba tasobola kugwawula kwogwo ogulimibwa ebisolo gukomekereza gulwaziza ebisolo. Omuddo oguyitibwa Datura gwa butwa era ogutta ebisolo singa zigulya.Omuddo oguyitibwa Desmodium gulimu ekiriisa eky‘ongera ekirungo kya nitrogen mu ttaka ,guba n‘obukoola butono n‘emirandira emiwanvu.Gulina ekirungo ekizimba omubiri kingi,ekiriisa ky‘ebikoola era guteeka ekirungo kya nitrogen mu ttaaka ekiviirako okufuna amakungula amangi.Omuddo gunno gulina ekiriisa ekizimba omubiri ku kippimo kya 15 ku 25 kubuli ki kumi n‘ekirisa ekiyamba mu kukuba emmere ku kipimo kya 56 ku 76 ku buli kikumi era gusobola okuwangala sizoni 8 ku 10 woba ogulabirira bulungi.
Ekigimusa ekisinga
Omuddo gwa desmodium,ekigimusa ekirimu ekirungo kya nitrogen tekyetagisa kigimusa kubanga kyo kyennyini kirina ekiriisa kya nitroggen.Okozesa ebigimusa ebikolebwa mu bisigalira by‘ente eza amatta biviirako ekiriisa kya phosphorous okubula mu mmere.
Omuddo gwa desmodium mulungi nnyo eri embuuzi ez‘amatta,obuyana n‘ente ezamatta ezakazaala kuba nga kinno kiyamba mu kusala sente ezisasaanyizibwa ku birungo ebiwebwa ente zamatta buli lunnaku ate kitwala sente ntono okusinga ebirungo ebigule.
Ennima y‘omuddo
Omuddo gusobola okusimbibwa mu ngeri bbiri,ng‘okozesa ensigo,wanno ensigo zisiimbiwa mu ttaka ku buwanvu bwa sentimita 2 era ensigo zetaaga amazzi agawera,engeri endala osobola okufuna ekirime ekimmeze obulungi n‘okyawulamu emirundi gy‘oyagala olwo nosimba bwonna bwoyagala nebusobola okummera mu ttaka.
Woba osimba oleka wo amabanga ga fuuti emu kw‘emu era obwo bwoyawudde n‘osimba bujja kummera.Omuddo gwa desmodium ogutalina birungo guba ne langi ya kyenvu ekitegeeza nti gulina ekirungo kya phosphorous kitono,ekiziba kitono n‘ekya nitrogen.
Ebyetaagisa mu kulima
Omuddo gwa Desmodium gwetaaga ettaka eryekigero n‘obusobozi bw‘okutereka amazzi ag‘ekigero.Munno mulimu ettaka lya kiwuga nkofu,ettaka egimu ery‘olubumbabumba,n‘ettaka eddugavu erigimu.Ensigo bulijjo zitwala ennaku 75 ku 90 okukula .Okusala okusooka kulwawo era kuno ku kolebwa mu nnaku 150 omuddo gusobole okumulisa,n‘okubala ensigo ez‘okusimbwa omulundi oguddako.
Ebika by‘omuddo gwa desmodium ebisinga okulabika biba n‘ebikoola ebyakiragala awamu n‘amabala amatono nga gamyukirivu n‘ekitaka ganno gaba ku bikoola waggulu,obukoola obulina langi eya feeza obulina enduli era n‘obukoola obubikiddwako amajjimbi/obuviiri obukwatta .Omuddo wegutuuka okutemebwa, ebitundutundu 30 ku buli kikumi bijja kuba bimuisiza era okusalibwa kukolebwa ku yinki 4 waggulu wettaka.