Capsicum nva ndiirwa ezirimirwa era ezikozesebwa ng‘ekirungo mu nsi zonna. Asobola okukula ng‘asimbiddwa mu ttaka oba okukulira mu mazzi.
Mu kulimira capsicum mu mazzi, weetegereze enkula y‘ekirime okuva ku kusimbuliza okutuuka ku mutendera gw‘okumulisa era ne ku mutendera gw‘okukula. Oluvannyuma lw‘okukula, kungula, sengeka era omupakire okutwalibwa mu katale. Mu nkola y‘okulimira mu mazzi, emikebe giteekebwamu empiira ezitonnyeza amazzi okukakasa nti ebirime bifuna ebirungo ebiri mu mazzi.
Emigaso gy‘okulimira mu mazzi
Capsicum bw‘alimibwa mu mazzi, okekkereza ku ttaka eryetaagibwa, okekkereza ku mazzi kubanga muliu okuddamu okukozesa amazzi n‘ebirungo, obwetaavu bw‘abakozi bukendeera kubanga temuba muddo oguteetaagisa n‘okulwaanyisa ebitonde ebyonoona ebirime n‘endwadde kukendeera ebitundu 80% era n‘okukyusa ebirime ebisimbi bwa buli sizoni tekwetaagisa.
Okulimira capsicum mu mazzi kulina omutindo n‘obuwangaazi obusinga okusinga okusimba capiscum mu ttaka. Olw‘ensonga nti mu kulimira mu mazzi, capsicum afuna ebirungo byonna ebyetaagibwa mu kumera. Okusabika capsicum n‘akaveera akayonjo ky‘ongera ku buwangaazi bwe.
Okwongera ku mutindo
Osobola okwongera omutindo ku nnyaanya eziri ku mutendera ogw‘okusatu oba capsicum atatuuka ku katale. Ebirime ebyongeddwako omutindo biwangaala nnyo era byongera omutindo ku katale akatale.
Capsicum omumyufu asobola okukozesebwa okukola ekirungo kya pasta sauce, obuboolo bw‘ennyama n‘ebirala.
Capsicum owa kyenvu asobola okuteekebwa mu mikebe oba n‘afuulibwa obuwunga ate ennyanya zisobola okukozesebwa okukola ekirungo ky‘omu mikebe.