Entangawuzi egwa mu kika kya zingibaraceae eky‘ebirime ebyetaaga enkuba ennyingi okukula n‘ebyetaaga enkuba entonotono okukula. Okulimira entangawuzi mu mazzi agalimu ebiriisa kuwa emiganyulo mingi okusinga enkola z‘okulimira ku ttaka.
Omutendera ogusooka kwe kusimba entangawuzi okuva ku mulandira oguyitibwa rhizome nga gulina eriiso erirabika. Kikulu okutandika okusimba amaaso mu ttaka eririmu nnakavundira olwo omale ozitwale okuzisimba mu mazzi edda. Mu kulimira mu mazzi agalimu ebiriisa, amazzi gaddamu ne gakozesebwa kubanga ebirime bifunako amazzi agabimala. Amazzi agakulukuta gafunibwa ne gazzibwa mu nnimiro y‘amazzi. Okufiirwa amazzi kutuukawo mu ngeri bbiri omuli; okufuumuuka kw‘amazzi n‘okutonnya okuva nnimiro.
Emiganyulo gy‘okulimira mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa
Ebirime by‘omu mazzi agatabuddwamu ebiriisa bikula mangu okutuuka ku bitundu 50% okusinga ebisimbiddwa mu ttaka olw‘ebiriisa ebibeerawo buli kadde. Ebirime ebirungi bisobola okufunibwa mu mwaka gwonna. Enkola eno eggyawo obwetaavu bw‘eddagala eritta omuddo n‘eritta ebiwuka ebyonoona ebirime. Ebirime mu nkola eno bikozesa ebitundu 10% eby‘amazzi okusinga ku bisimbiddwa mu nnimiro.
Okwongerako, ebirime ebisimbibwa kumukumu noolwekyo ekifo kitono ekikozesebwa oba ekyetaagibwa. Abalimi era basobola okulima emmere mu kiseera ekituufu okwongera ku magoba. N‘ekirala omuntu y‘aba n‘obuyinza okufuga ebbugumu, obungi bw‘amazzi mu mpwewo, obungi bw‘ekitangaala n‘empewo eyeetaagisa.