Waliwo ensonga neby’okufiirwako byolina okusa mu birowoozo byo ng’olonda ekiffo ew’okulundira enjuki osobole okufuna mu bulunzi ,obulamu bwenjuki obulungi ,n’okwanguyiriza ku ndabirira.
Kyolina okusaako essira ekikulu ng’olonda ekifo awalundibwa enjuki bwe bwangu mu kufuna oluzzi oluwoomerera okuva ku bimuli n’obuwunga obukwasisa ebimuli obuva ku kitundu ky’ekimuli ekisajja nga biri ku mutindo .Kubanga binno enjuki zibyetaaga awamu n’amazzi.Londa ekifo awasinga okuba ebirime ebimulisa.
Ensonga endala.
Ekiffo ky’olina okulonda wekiba kisoboka kibeere kumpi n’ewaka olwo okulambula kube kwangu.Obwangu bwoba nabwo mu kutuuka ku kiffo w’olundira enjuki kya mugaso nnyo n’olwekyo wewale ekiffo ebitali byangu kutuukako oba ebyo ebiyinza okukosebwa amataba.
Osobola okufuna awalundibwa ku kifo eky’obwanannyini ng’omaze okusaba olukusa okuva ri nnyini wo.kikolwa kirungi nnyo eri ba nannyini bizinwnsi okwerinda kw’ebintu byabwe okwonooneka oba okwerinda okuva eri omuliro (insuarance) w’oba olundira ku ttaka eryobwanannyini oba erya govumenti.
Awalundibwa awali mu bbanga wewasinga okwettanirwa naye awali ebisiikirize walungi nnyo naddala mu kiseera eky’ebbugumu.Kyamugaso nnyo okwerinda n’okwewala obuwuuka okuli enswa n’obukkere.
Ebiffo by’okwewala
Wewale ebifo ebiyinza okukosebwa amataba n’ebiffo omuliro wegusoobola okubaluka.
Wewale okulundira okumpi n’amakubo,awaterekerwa ebintu,ensolo wezinnywera amazzi,ku biyiiriro n’awakunganira.
Wewale okulundira mu kifo eddagala erifuuyira werisobola okutuuka n’okumansuka nga bafuuyira.Era kyamugaso nnyo obutalundira kumpi nawali ebyuma ebikuba emmere,ebikuba sukaali n’amakolero n’ensolo wezirira kubanga ebiseera ebisinga enjuki ziyinza okuzingako ebifo webityo okusobola okufuna ekiriisa ekizimba oba sukaali.Kikuyamba okwewala abantu okukusa ebintu byo.