Okulunda enjuki mulimu ogufunira ddala era omubisi gw‘enjuki gulina emigaso ku bulamu mingi naye kirungi okuberako nobumanyirivu mu kulonda ekifo awokulundira n‘okulabirira enjuki nga tonaba kuwanika mizinga.
Wabula toteeka mizinga mu bifo webafuyira eddagala eritta ebiwuka, ebyuma bya sukaali n‘amakolero gemere n‘ebyuma kubanga enjuki zijja kugya emere mu bintu ebyo ebiwomerera. Omubisi ogusiinga okukolebwa guva mubiriridwa.
Ebigobererwa nga olonda ekifo
Wegendereze okufuna ekifo nga enjuki zibuukanga tezikalubirizidwa engeri enjuki ezikola omubisi nti zetaaga emere erimu ebirungo byonna okuva mu mubisi gw‘omubimuli, obwunga n‘amazzi. Mungeri yemu londa ekifo nga mulimu ebimera ebimulisa ennyo okusobola okuwa enjuki ekirungo kya nectar ekikozesebwa okukola omubisi
Okwongerako londa ekifo nga waliwo amazzi amalungi kuba omuzinga gumu guyinza okwetaaga liita za mazzi 4 buli lunaku mu budde obwomusana, emizinga zirina okutekebwa okumpi n‘ewaka okusobola okutambulawo amangu n‘okuzirabirira nga totekamu nnyo.
Mukwongerako, londa ekifo nga kyamusetwe okusobola okuzilondoola, okukyusa abakozi wamu nokulabirira emizinga okutwaliza wamu wabula nga wali mu kisikirize naye ebifo omubeera amataba, omuliro, obubbi, obukumpanya buyinza okubawo era birana okwewalibwa kubanga bikola kinene nnyo okukendeeza ku bungi bw‘omubisi.
Endabirira y‘enjuki
Beera nga olabiriza, olwanyise ebiwuka ebirala era emizinga ogiteeke ku mpagi nga kino kigobererwa kubeera nga okebera obuwunga n‘omubisi ebiva mu bimuli.
Ate era emizinga girina okutekebwa awatali bantu, obeere ne kkomo ku bungi bw‘emizinga era emiryango tegirina kuunula wava kitangaala kubanga kiyinza okukendeeza ku ngeri omubisi gyegukolebwamu, nemukusembayo kakasa nti wekkaanya ebimuli by‘omukitundu okukakasa nti ebimera n‘emiti tebirina biwuka binuunamu mubisi wamu nokutambusa obuwunga bwokubimuli.