Olwokuba omulimu ogufuna ennyo, onungi n‘omutindo gw‘ebivaamu bisinzira ku mutendera n‘ekika kya tekinologiya gwokozesa.
Okulunda enjibwa kunyuma, kw‘amagoba era ebinyonyi bimanyikibwa. Wabula, obutafanana nga bizinensi endala, okulunda enjibwa kwetaaga amaanyi matono era n‘entandikwa ntono era enyama y‘obuyibwa obutto ewooma nnyo, erimu ekiriisa era eyayanirwa nnyo.
Endabirira ya faamu
Nga okulunda enjibwa gyekuli okufuna ennyo ate kunyuma, enjibwa zisobola okulundibwa mulugya awaka oba wagulu ku mabati g‘enyumba. Zitandiika okubiika amaggi ku myezi 6 era zizaala obwana bubiri buli mwezi okutwaliza awamu era okuzirabirira obulungi kakasa nti epewo n‘ekitangaala biyingira bulungi mu kayumba.
Mu ngeri yemu, akayumba kayinza okuzimbibwa n‘ebintu byabulijjo era amabanga g‘enjibwa gaba 30cm obukiika, 30cm obugazi era nobuwanvu kyekimu era oyongeri okukuuma akayumba okuva eri obulabe bwebyo ebibulwa era weale okuyingiza amazzi munda.
Akayumba kakuume nga kayonjo era kakalu era okukayonja emirundi gumu oba ebiri mu mwezi okusobola okuba n‘enjibwa enyonjo. Okuliisa enjibwa emere erina okubaamu 15-16% Protein era zirina okulisibwa 30-50g ezemere ey‘empeke buli lunaku. Emere ogikumira mu maso g‘enyumba era bwoba oyagala zikule mangu, ziwe ebisusunku by‘ekovu, layimu, obuwunga bw‘amagumba, omunnyo, emere y‘akiragala entabule wamu n‘omunnyo omutanbule buli lwoba ogiriisa emere y‘abulijjo era ebivavava wamu n‘amazzi amayonjo okumpi n‘enyumba.
Okwongerako, obuyibwa obuto emere bijija ku ba maama babwo okumala enaku 10 era busobola okubuuka bwoka na bwoka okweriisa. Kumira emere n‘amazzi amayonjo okumpi n‘enyumba era enjibwa zitandika okubiika ku myezi 5 ku 6, zibiika amagi abiri buli mwezi era ne‘galulwa mu naku 17 ku 18. Endwadde eziyinza okulumba enjibwa mulimu T.B, cholera, omusujja g‘womubyenda new castle, pox, senyiga n‘endwadde eziva ku ndya embi.
Nekisembayo okufuna amagoba amalungi, goberera okuwabulwa kwabasawo bebisolo, yawula endwadde ku namu, zigeme mu budde, akayumba kakuume nga kayonjo era nga temuli buwuka ziriise emere erimu ebiriisa byona era kozesa eddagala okugyamu ensekere okuva mu mubiri.