Obulunzi bw’enkok bufunira ddala wabula endwadde kyekisomooza ekisinga naye bweziba nga zitangidwa bulungi era nga ebinyonyi obirisiza bulungi bikuwa amagoba mangi mu bbanga tono.
Ebirungi mu kulunda enkoko mulimu, okwongera ku nyingiza, okutondawo emirimu ate nga muvamu ebigimusa bya Nitrogen. Okufuna ebivamu ebirungi, ebinyonyi birina okuwebwa emere ey’omutindo mu budde obutufu okugeza etandikibwako okumala wiiki 4-5 nomaliriza n’esembayo okumala wiiki 3 kuba gyokoma okuba n’enkoko enyingi bwebungi bwamagoba naye kakasa nti olina jenerta oluberera okusobola okulya buli kade n’ezikuwa mangu mukaseera katono.
Endabirira n’ebikola
Kozesanga amazzi agalimu eddagala nga temuli kisu nga pH emala wakati wa 6 ku 7 era nga gano ogatabula eddagala ku makya okwewala esaawa z’ebbugumu emisnan era kakasa nti ogoberera entekateka y’okugema okutngira obuwuka okukwata ekisbo.
Ekyobiri toziwa mazzi okumala esaawa okusobozesa eddagala erigema okukola. Okugata kwekyo,togatikanga enkoko eziva awantu awenjawulo kuba ziba n’emirimu gya njawulo era zirina okuwebwa amazzi ku bbugumu erisanidde wakati wa 10-14^C mu mugatiko gwa 25kg /m wezitukira okusalibwa.
Engeri y’okwewala obuwuka obuleeta endwadde
Tnadika n’akuzimba lukomera ku faamu okutangira abagenyi abatetagisa, olwo oyonje era ofuyire obuwuka mu biyumba by’enkoko naddala nga zigwamu oba nga oleeta empya, era nawe wefuyire nga tonayingira mu nyumba ya nkoko okwewala okutwalayo obulwadde mu kisibo era fuyira faamu ogobe ebiwuka kubanga ebyo bitambuza obulwadde.
Ebyokwerinda n’ebisomooza
Endwadde, kino kyekyokwerinda ekikulu kubanga buleeta okufa wabula busoboka okutangirwa nga tukuuma obuyonjo. Obutaba na sente zimala kisomooza abalunzi b’enkoko kubanga omulimu guno gwetaaga sente , abalunzi basasanya ebintiu 70/100 ku mere ku sente ezitekebwa nkoko.