»Okulunda enkoko za kuroiler ekitundu ekisooka«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=mswXl1tFjc0&t=92s

Ebbanga: 

00:18:19

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2014

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Village Chicken
»«

Enkoko za Kroiler zirina obusobozi okw‘enonyeza eky‘okulya era nga kino kiyamba okukendeeza ku sente ezisasanyizibwa ku mmere. Enkoko za kuroiler zasibuka mu gwanga lya buyindi.s

Ekirala enkoko za Kuroiler zatunzi nyo kukatale, zirina obusobozi okulwanyisa endwadde wamu n‘okugumira enkyukakyuka mumbeera yo budde. Enkoko zino buli mwaaka zibiika amagi wakati we 150 ku 200. Enkoko za kuroilers zifuna nyo kubanaga zibiika, ennyama yaazo erimu ekiriisa ate nga ziriko emirimu eri abavubuka okusobola okweja mubwavu. Kyamugaso okuleka enkoko okutayaya olwo gwe n‘ozirikiriza olwegulo nga zikomyeewo. Enyama oba amagi ebiva munkoko za kuroiler singa bifumbibwa bulungi birimu ekiriisa kyingi nadala eri abaana abato.

Ebigobererwa mukulunda

Kakasa nga ogula obukoko nga buwezeza wiiki 2 oba 3 ate nga bugemeddwa okuva kubatunzi abesigika okusobola okwewala ogugula obukoko obulwadde.

Ekirala wetanire nyo okulongoosa ekifo enkoko wezikumirwa buli lunaku wamu n‘okukyusa obukuta kisobozese enkoko okula obulungi mukifo ekyeyagaza era ekiyoonjo.

Mukifo enkoko werundibwa tekamu ebisu enkoko kwezibiikira era faayo nyo okukungaanya amagi buli lunaku.

Enkoko zireke zitambule z‘enonyeze eky‘okulya awo oluvannyuma olyooke ozirikirise. Kakasa nga ekifo enkoko wezibeera kikuumibwa nga kiyoonjo okusobola okwetangira endwadde. Ekisembayo oluvanyuma lw‘ebanga mukiyumba gulayo enkoko endala kubanga enkoko za kuroiler buli lwezikula zibeera tezikyavaamu makungula bulungi.

Okufuna sente mu nkoko

Enkoko zireke zitambule okusobola okwenonyeza ekyokulya oluvannyuma ozirikirize nga zikomyewo olwegulo kuno kikendeeza ku sente ezisasanyizibwa okugula emmere.

Tunda amagi wamu n’enkoko ezikuze obulungi mu budde osobole okuzaawo sente ezisasanyiziddwa mu kulunda.

Enkoko zitundire wamu mu kibinja osobole okufunamu sente ezegasa.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:51Enkoko za Kroilers zigumira endwadde, zivaamu enyama, amaggi emirimu wamu ne sente.
01:5202:32Ebigobererwa mu kulunda enkoko za kuroiler.
02:3303:14Gula obukoko nga buwezeza wiiki 2 ku 3 ate nga bugemeddwa okuva mu batunzi abesigika.
03:1504:09Enkoko za Kroilers zikula mangu bw‘ezirisibwa obulungi, zirya ebika byemmere eby‘enjawulo. Enkoko zino zibiika amagi 150 ku 200 buli mwaaka.
04:1005:03Kumira enkoko mukifo ekiyoonjo ate nga kigazi. Kyusa obukuta obukadiye okuva munyumba y‘enkoko.
05:0407:07Enkoko ziwe ebisu kwezibiikira era kakasa nga ogula obukoko okuva kubatunzi abesigika.
07:0809:15Enkoko zireke z‘enonyeze eky‘okulya oluvannyuma ozirikirise, kuuma enyumba y‘enkoko nga nyoonjo, enkoko nga bw‘ezikadiwa gulayo endala.
09:1610:00Okwongera okuyiniza okuva mu nkoko za kuroiler.
10:0111:52Enkoko zireke zitambule, ozirikirize tunda amagi ne nyama.
11:5314:44Enkoko zitundire wamu mukibinja. Enkoko za kuroiler ziwa abantu emirimu egisasula.
14:4517:38Enkoko za Kuroiler, zigumira enkyukakyuka mu mbeera yo'budde, zizaala nnyo era zikula mangu.
17:3918:19Enyama oba amagi ebiva munkoko za kuroiler singa bifumbibwa bulungi birimu ekiriisa kyingi nadala eri abaana abato.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *