Okulunda obumyu kwetaaga kuteekamu kitono era obumyu bw‘osoose okulunda buzaale obulala bumala emigigi okwongera okulunda era obulunzi buyinza okukolebwa nga ebiyumba bizimbibwa mu mbiriizi z‘ennyumba esulwamu anti byetaaga ekifo kitono, byangu okulabirira, emmere yeetaagisa ntono, obumyu bumanyiira mangu embeera wamu n‘endaddw ze bulwala ntono kwogatta n‘ebitonde ebibirumba. Obumyu era buleeta mangu ssente.
Abalimi balina okuyiga okutunda ebivudde mu bye balunze era bakole okwebuuza okugonjoola ekizibu.
Endabirira y‘obumyu
okufuna mu bulunzi, mu kayumba kamu teekamu obumyu obulume butaano ku bukazi musanvu oba obulume bubiri ku munaana. Obumyu nga kikumi mu ataano ku bibiri bwe bwetaagisa okulunba mu ngeri ey‘okuleeta ssente era nga okozesa ebintu ebisangibwa awo w‘obeera, zimba ebiyumba mu buwanvu bwa ffuuti kkumi na ttaano ku kkumi ne ffuuti kkumi na bbiri ku munaana okusobola okuserekera wagguluko okuziyiza ebbugumu erisukkiridde.
Ekyokubiri, teekako amadirisa amanene okuyingiza obulungi empewo era gateekemu akatimba ak‘ekika kya G.I okukuuma obumyu okubutaasa eri ebitonde ebibulya era oggale amadirisa nga okozesa ekiruke okwongera ku bbugumu mu kayumba. Buli kamyu katwala ffuuti nnya ku nnya era okubuteeka ku ttaka kye ekisinga kubanga linywa omusulo n‘amazzi okugoba olusu. Wabula yonja wansi buli lunaku era okuume amabanga agamala.
Engeri z‘okulundamu
Nga okozesa enkola ey‘okwalirira mu kiyumba ky‘obumyu, obumyu bukuumibwa nga bwaliriddwa omuddo omukalu mu kayumba. Wabula ekibi kiri nti kyongera okulwanagana mu bwo, kyongera ku bizibu ebikosa obulamu bwabwo, obumyu obutono buba tebulina bukuumi, tewali kiyinza kuziyiza bumyu obwo kuzaala mu bunaabwo bwe buli mu kayumba akamu noolwekyo si nkola nnungi mu bulungzi obw‘okufuna ssente.
Mu nkola ey‘obuyumba obw‘obusenge, obumyu bulundirwa mu busenge obukoleddwa akatimba aka ggeegi kkumi na mukaaga nga ka ffuuti ataano mu buwanvu ne ffuuti nnya mu bugazi.
Ebika by‘obumyu
Mu kulunda obumyu, ebisinga omugaso mulimu ennyama, ebyoya, n‘okusanyusa amaaso, so nga ebika byabwo mulimu New Zealand white, Carlifonia white, Russian grey giant, black giant ne soviet chinchilla. Kuuma ekika ky‘akamyu nga tokitabuddeemu kirala, yawula obumyu obuzaala.
Nga otabula ebika by‘obumyu eby‘enjawulo bisobole okuzaala, akamyu akakazi kateeke mu katimba kakasajja. Laba oba kawase nga okozesa engalo. Kawe emmere, amazzi, kakasa nti kayonsezza, kuuma obumyu obuto eri obunnyogovu, bwawule nga buwezezza omwezi era obuwe emmere ya “matten“ etabuddwa mu mazzi. Emmere eyeetaagisa eri ebitundu bisatu n‘obutundu butaano ku buli kikumi mu bumyu obutono, n‘ebitundu bitaano n‘obutundu butaano mu bumyu obunene. Era laba nga bulina ekitangaala ekimala n‘empewo ennungi era ojjanjabe obumyu obulwadde.