Okulwanyisa ekiwuka ekifunya ebikoola by’omuceere.

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/managing-rice-leaf-folder

Ebbanga: 

00:11:55

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

MSSRF
» Nga ogatta enkola ez'enjawulo ez'obutonde, ojja kukungula omuceere omungiko era okole ssente ennyingiko.«

Omuceere mmere ya mugaso esinga okuliibwa ku ssemazinga wa asia lwakuba gulumbibwa endwadde nnyingi n’ebitonde ebyonoona ebirime. Ekiwuka ekifunyaamu ebikoola by’omuceere kitonde ekyonoona ebirime ekirumba omuceere ku mitendera egy’enjawulo egy’okukula.

Okulwanyisa ebiwuka ebifunya ebikoola by’omuceere oyita mu kulima bika ebitalumbibwa biwuka ebyo mu mabanga aga bulijjo ag’obugazi obwa ssentimmita abiri ku abiri okusobozesa omusana okugutuukako. Kozesa ebigimusa ebikoleddwa mu bintu eby’obutonde kubanga ekirungo kya nitrogen ekiyitiridde ekiva mu bigimusa ebitali bya butonde kyongera okusikiriza ebitonde ebyonoona ebirime. Ebiwojjolo ebikulu bitege amataala era laba nga tebibiika magi ku bikoola era n’okukozesa ebiwuka eby’omugaso okugeza ennumba ezirya ebiwuka zisobole okutta ebiwuka ebifunya ebikoola by’omuceere. Ennumba zino zibiika amagi gaazo mu magi g’ebiwuka ebifunya ebikoola by’omuceere, era, ennumba bw’egenda ng’ekula, erya amagi g’ebiwuka ebifunya ebikoola by’omuceere era n’ebyonoona. Funa kkaadi eziriko amasanda agakwata ebiwuka okuva mu maduuka g’abalimi era zikyusekyuse buli luvannyuma lwa nnaku abiri.

Amataala agakozesebwa ng’obutego

Akatego akangu ak’amataala kasobola okukolebwa nga okozesa obuzindaalo bwa pulasitiika bubiri. Akazindaalo akamu kabeere waggulu w’ettaala y’amasannyalaze, akalala nga kali wansi waayo okukwata ebiwojjolo. Obuzindaalo bwombi busemberegane waakiri olekewo ebbanga lya ssentimmita waakiri bbri wakati w’obuzindaalo. Teeka olupiira oluliko obunene bwa ssentimmita bbiri n’ekitundu ku kazindaalo ka wansi ebiwojjolo bisobole okugwa mu mazzi agali wansi. Akatego ako kasibe ku muti ku buwanvu bwa mmita wakati w’emu n’ekitundu okutuuka ku mmita bbiri, omutego gusobole okubeera wagguluko n’omuceere. Bw’oba tolina masannyalaze, osobola okukozesa ettaala ey’omukono. 

Enkola ennyangu ez’okutangira ebitonde ebyonoona ebirime

Okuteeka obuti obwakula ng’obusaalaba mu nnimiro y’omuceere ebinyonyi bisobole okuwummulirako. Ebinyonyi birya ebiwuka ebifunya ebikoola by’omuceere. Oyinza okwanjuluza ebikoola ebifunyiddwa n’otta ebiwuka ebifunya ebikoola nga okozesa emikono gyo.
 Oluvannyuma lw’okukungula, ebiwuka ebifunya ebikoola by’omuceere bisigala mu bikolo by’omuceere n’ebimera n’omuddo. Okwokya ebikolo tekitta biwuka ebyekwese wabula kitta biwuka eby’omugaso. Ensekeseke z’omuceere zikozese ng’eby’okwalirira ensolo, ng’emmere y’ensolo oba okubikozesa ekintu ekirala kyonna.
Sala era oggyemu omuddo nga tonnaddamu kusimba bimera birala kubanga omuddo guyinza okubeera ekimera ekirala ekiyinza okubeeramu ebiwuka bino. Oba, leka ensolo zirye omuddo ogwo. Nga ebirime biri mu nnimiro, ggyamu omuddo. 
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:09Omuceere mmere ya mugaso esinga okuliibwa ku ssemazinga wa Asia naye gulumbibwa ebiwuka bingi wamu n'endwadde. Ekiwuka ekifunya ebikoola by'omuceere ky'ekimu ku bitonde ebyonoona ebirime.
01:1002:23Ekiwuka ekifunya ebikoola by'omuceere kiwojjolo ekya kitaka ekirimu ebikuubo eby'amayengo wakati ku biwawaatiro byakyo.
02:2402:29Ebiwuka ebifunya ebikoola by'omuceere era byonoona nnyo omuceere nga bigudde mu bitundu awali akasiikirize.
02:3003:00Okulwanyisa ekiwuka kino, simba bika bya muceere bye kitalumba.
03:0103:18Simba nga olekamu amabanga aga bulijjo agawerako ssentimmita abiri ku abiri.
03:1904:09Okukendeeza ebiwuka ebifunya ebikoola by'omuceere, kozesa ebigimusa ebikoleddwa mu bintu eby'obutonde. Ekirungo kya nitrogen ekingi ekiva mu bigimusa ebikolerere kyongera ku katyabaga k'okuleeta ebiwuka mu nnimiro.
04:1006:15Osobola okutega ebiwojjolo ebikulu nga okozesa omutego gw'ettaala.
06:1607:39Osobola okukozesa ebiwuka eby'omugaso okutta ebiwuka ebifunya ebikoola by'omuceere. okugeza; ennumba ezirya ebiwuka ebirala.
08:4008:15Okuteeka obuti obwakula ng'akasaalaba mu nnimiro kisobozesa ebinyonyi okuwummulirako era ebinyonyi byebimu birya ebiwuka bino ebifunya ebikoola by'omuceere.
08:1608:29Osobola okwanjuluza ekikoola ekifunyiddwa era n'okozesa engalo okutta ekiwuka ekibadde kifunyizza ekikoola ekyo.
08:3008:59Nga okukungula kuwedde, ensekeseke z'omuceere zikozese ng'eby'okwalirira ensolo, emmere yaazo oba okuzikoesa ekirala kyonna.
09:0009:17Sala era oggyemu omuddo nga tonnasimba kirime kirala kubanga omuddo guyinza okubeera ekintu ekirala ebiwuka ebyo mwe biyinza okwekweka.
09:1809:39Nga ekirime kikula, ggyamu omuddo.
09:4011:15Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *