Obulimi bwempirivuma busanga ebizibu eby‘amanyi ebiretebwa ekiwuka eky‘onoona empirivuma. Naye kino kisobola okuziyizibwa nga tukozesa enkola ezabulijo mukw‘eyambisa olupiira oba ebomba efuyira neddagala eritta ebiwuka eriragidwa.
Ekiwuka kino bwekiyingira mumuti, kisensera munduli era nekigonza omuti gwempirivuma ekivirako amakungula okubeera amatono. Akabonero akasooka okulaga nti ekiwuka kino kirumbye omuti gw‘empirivuma kwekulaba ekisu ekipya mumpompogoma zenduli y‘omuti ekiviramu oluzizi olwakitaka oluseerera era n‘okuwunya nga lukulukuta luva mubutuli obuli mumuti. Akabonero akalala kwekulaba ebintu eby‘efananyiriza empumbu ku nduli.
Engeri z‘okutangira
Osobola okuziyiza okulumbibwa bwekiwuka kino eky‘onooa empirivuma mukusookera ddala nga tuyita mukusiiga ebikoola ebiwotofu nga bigatidwaamu ekirungo kya sulphur oba evu oba bifuyire wamu neddagala erita ebiwuk. bino bikugira ekiwuka.
Osobola okuziyiza obuwuka nga tukozesa enkola ezabulijo mukw‘eyambisa olupiira oba ebomba efuyira neddagala eritta ebiwuka eriragidwa. Naye buli kiseera yambala ebikuziyiza okutuukako obulabe bwona obuva kuddagala ly‘ofuyiza.
Mukukozesa enkola y‘olupiira, kola ebinya bina ku bitaano mukipimo kya 10cm wagulu w‘omulyango gw‘ekisu mungeri eneretera eddagala okuyiika mu nduli amangu. Tabula ekika kyeddagala eriragidwa mu bipimo ebituufu oriyiwe mu ndulu nga weyambisa ekyupa. Eky‘okusoomoza nenkola eno ekisinga kwekuba nga ebiseera ebisinga eddagala tono erituuka ku kisu okuta kinamatimbo kyekiwuka kino.
Ebomba ekozesa amasanyalaze
Okukozesa ebomba y‘ekyuma, wetegereze ekifo ky‘ekisu kyekiwuka kino era otekeko ekyuuma kisime ebitulu mubanga lya 15 to 20 cm wagulu w‘ekisu. Gata ekisima ku bomba. Juza tanka n‘ekika kyeddagala erikirizibwa olifuuwe munduli y‘omuti.
Oluvanyuma lw‘okufuyira, bika obutuli obutono era olambe emiti egifuuyidwa awo oj‘ekebeje okumala emyeezi nga esatu.
Emiti egisinze okukosebwa, eby‘ononese biyinza okuba nga tebisobola kuzibwa mabega era neddagala telija kukola. Kyoka ky‘oyina okukola kwekutema n‘okwokya oba okuziika enduli.