Ebivavava mere, ddagala ate nga zivamu sente eri abalimi era bwebagoberera emitendera emituufu abalimi basobola okufula endokwa ez’omutundo ezivamu ebirime ebirungi.
Wabula olugendo lwona lutandika nakulonda nsigo nungi okuva eri abesigika nga temuli bulwadde, nga efanagana, emeruka bulungi era nga ekumibwa mu kifo ekiwewevu nga wakalu. Wailo endwadde ez’enjawulo ezikwata ebivavava era nga ezisinga ze aphids wamu nebiwuka ebirala ebinuuna amazzi nga bitambuza obulwadde, obwomutaka nga engeri esinga mwoyinza okubyewala butakozesa ttaka nokozesa ebintu nga olusenyente olukolebwa mu mpapula (Pitmoss) wamu n’ettaka eriva mu kulunda ensiringanyi (vermiculite) era wewale okukozesa ebikonge by’emiti kubanga emirandira giyinza okumera mu miti.
Emitendera egisokerwa nga olima
Tandika nakulonda ensingo ey’omutindo okuva eri abesigika era ozimereze mu bulobo. zino osimba ensigo emu buli kinya ku buwanvu bwa 1cm mu ttaka omutali bulwadde era nobika, okugattako obulobo obutuuza awantu awasitufuokwewala endwadde z’omuttaka olwo ofukirire okutandika okumera bwomala oziwe ekisikirize n’ebbugumu lya 20-25^C okwongeza ku kumeruka n’ensigo okusituka amangu.
Endokwa bwozikuliza mu kiyumba (green house) kakasa nti tewali kisikirize era otangire ebiwuka wamu n’endwadde z’omuttaka wabulaengeri esinga okulwanyisa obulwadde obuva mu ttaka kwekukozesa olufu nga teruva mu ttaka. Okusembayo nga wayise wiiki 4simbuliza era ozibikule nanye nga emitunsi ogikuuma kubanga bwegimenyeka kiyinza okuyingiza obulwadde.