Emmere y’emu ku nsonga enkulu esinga okukosa omulimu gw’obulunzi nga kwogasse n’omutindo mpozzi n’obungi bwe biva mu mulimu ogwo.
Wadde ebisolo bwebiwa amagi, ennyama,amata n’ensimbi eri omulunzi, emmere etalimu birungo bimala ekossa nnyo omulimu guno kuba kivirako ebisolo okukogoka, amata okukendera nga tegalimu masavu, ebyoya bibuza langi olwo ensolo n’etandika okufuna endwadde z’olususu.
OKUKOLA EMMERE Y’EBISOLO
Ezimeruse ziba mpeke ezinyikiddwa mu mazzi era n’ezirekebwa okumeruka kuba zanguwa okukubibwa naddala nga ziririddwa okusinga empeke era kino kisoboka okukolebwa okumala omwaka mulamba . Kino tekyetaagisa ttaka lyonna, kifo wakulimira, atera zisobola okukolebwa mu kika ky’empeke kyonna.
Mu ngeri y’emu , nnyika obuwero busatu mu mazzi,omale ogakamulemu, buteeke wansi olwo ozeeko okuteekako empeke 50 nga olekawo amabanga ga lugalo lumu bw’omaliriza zinga ekitundu ekitundu ekirala ku mpeke. Tobya akagoye buli kadde okusobola okukuuma obunyogovu era oluvanyuma lw’ennaku 2 ku 3 kabikule okebere oba empeke zitandise okumeruka era okole ekibalo kwezimerukira ekiri ku kikumi ku kikumi.
Okuleeta obulungi emitunsi, kozesa ensigo eziri ku mutindo era oziteeke mu mukebe, gattamu ekibatu ky’omunnyo, amazzi agatukula era oggyemu ensigo eziregamye ku mazzi. Zino zinyikibwa okumala essawa 12, neziteekebwa mu kisikirize olwo amazzi n’egaggyibwamu. Okwongerezaako, tereka empeke mu nsawo etukula eya cotton , gibike musobole okujjamu ebbugumu munda era ogikuumire mukasikirize. Mu budde obw’ebbugumu, empeke kizitwalira essaawa 26 ku 18 okumeruka.
Yongera okuzinga ensawo mu bulangiti era oluvanyuma lw’okumeruka, ziggyemu kuba ziba zituuse okulibwa ensolo. Buli nsolo giwe ekitundu kya kilo y’empeke ezimeruse omulundi gumu olunaku nga bwoziwa n’emmere endala.
Mu bufunze, endiga ziwe ekibatu 1 oba 2 eky’empeke ezimeruse emirundi ebiri mu wiiki n’enkoko 10 ziwe ekibatu kimu omulundi gumu olunaku.