»Okumeza emirandira ku matabi g‘ekimera | Enkola ennyangu ey‘okusimbamu ekimera kyonna | Okumeza emirandira ku matabi g‘emiti«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://youtu.be/BGwzdg0PDHU

Ebbanga: 

00:03:19

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Discover Agriculture
»Okumeza emirandira ku matabi oba endu y‘ekimera y‘enkola ey‘okumeza emirandira ku ndu y‘ekimera nga ekyekutte ku kimera ekyasooka okusimbibwa, era n‘okusalako endu oba ettabi eryo nga emirandira gizze kisobole okusimbibwa. Ekigendererwa ky‘okumeza emirandira ku ttabi oba endu kyekimu ng‘eky‘okutemaatema endu y‘ekimera okufunamu ensimbo/ensigo, kwe kugamba okuzaazaamu ebitonde ebifaanaganira ddala mu neeyisa n‘enkula mu bimera. Enjawulo yokka eriwo eri nti okumeza emirandira mu nkola ey‘okugimeza ku matabi kikolebwa ettabi terinnatemebwa ku ndu y‘ekimera ekikulu, ekintu ekiteekawo emikisa emingi ebimera ebyo okufaanagana. «

Okumeza emirandira ku matabi g‘ekimera y‘enkola y‘okumeza emirandira ku ndu oba ettabi ly‘ekimera nga ettabi eryo likyekutte ku kimera, n‘osalako ettabi eryo nga emirandira gimaze okumera okusobola okulisimbuliza.

Okumeza emirandira ku ttabi ly‘omuti kireetera ekitundu ekya waggulu eky‘ekimera okumerako emirandira nga kikyekutte ku kimera kisobole okuggibwako kiddemu kisimbibwe. Okumeza emirandira ku kimera weetaaga akambe, ssoloteepu n‘ettaka. Nga tonnakozesa kambe, kaggyeeko obuwuka nga weeyambisa amazzi aga ssabbuuni.

Okusala endu

Mu buwanvu bwa kitundu kya yinci oba yinci emu ku ndu wansi w‘ettabi we likwatira ku ndu, sala ekikuta naye nga toyingira nnyo munda okwetooloola endu yonna.

Nga oleseewo obuwanvu bwa kitundu kya yinci oba yinci emu waggulu w‘awo we wasaze, sala omulundi ogwokubiri nga okweetooloola endu. N‘obwegendereza, ggyako ekikuta nga okisalamu busimba nga olaba nti tosala ndu yennyini.

Ettaka n‘okusabisa akaveera

Sala ekitundu ky‘akaveera akeegolodde obulungi nga kaliko obugazi bwa yinci kkumi na bbiri ku kkumi namunaana. Kanjuluze keegololole bulungi. Funa ettaka ebbisi olizingezinge libeere lyetooloovu. Ettaka eryo linyige mu makkati oliteeke ku ndu w‘osaze olabe nga w‘osaze wali mu makkati g‘ettaka eryo ly‘otaddeko. Ettaka lyetoolooze endu yonna.

Teekako akaveera nga okeetoolooza ettaka eryo okulaba nga ettaka lyonna libikkiddwa akaveera. Bwe wabaawo ettaka eriri waggulu oba wansi w‘akaveera, lizze ku linnaalyo mu kaveera munda era osibe akatuttwa wansi ne waggulu ku kaveera.

Okufukirira n‘okusimbuliza

Laba nga tewali ttaka liringiza. Zzaayo ekimera mu kifo we kibadde kikulira olirondoole buli wiiki. Teeka amazzi mu ttaka eryo buli lunaku okuliziyiza okukal. Kino kimala ebbanga wakati w‘omwezi ogumu n‘esatu.

Toggyaako mangu kimera ekyo nga omulandira ogusooka gwakajja, naye laba nga okifukirira n‘obwegendereza kubanga ku mulundi guno emirandira emipya gijja kusika amazzi okuva mu ttaka eryo. Nga emirandira girabiddwa nga gyetoolodde akaveera okukabuna, ekitundu ekimezeddwa kiba kituuse okwawulwa ku kinnaakyo. Ggya akaveera ku mirrandira, sala endu nga ogisalira wansinsi w‘emirandira we gyamera oluvannyuma okisimbe wonna w‘oyagala.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:43Okumeza emirandira ku kimera kwe kumeza emirandira ku ndu oba ettabi nga endu eyo oba ettabi bikyekutte ku kimera.
00:4401:26Sala naye nga okomya kumpimpi akambe ku ndu obuwanvu bwa kitundu kya yinci oba yinci emu wansi w‘ekkundi ettabi we ligattira ku ndu.
01:2702:18Funa ettaka ebbisi eriweza ekibatu oliteeke ku kaveera.
02:1902:49Teeka amazzi mu ttaka buli lunaku okutangira ettaka okukala.
02:5003:19Nga emirandira girabiddwa nga gizze mu kaveera okukabuna, salako era osimbe ettabi eryo erimeze.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *