Ng’engeri y’okugunjawo ekippya mu balimi ab’enjawulo,okubika ensigo z’emmere y’empeke kw’ongeza ku makungula g’ebirime mu bitundu ebikuwereddwa.
Okusinzira nti amazzi g’enkuba,ebigimusa n’ebirungo binnyikira ebirime webibyetaaga ,abalimi basiga ensigo mu binnya ebimpi nga biteekeddwa mu nakavumbira wabula ebirime bisobola okosebwa amazzi agalegama ,ebinnyonyi n’ebiwuka.
Okujjanjaba ensigo
Kubanga abalimi bajjanjaba ensigo nga bakozesa eddagala ery’obulabe erikolebwa mu makolero,kino kivaako kukosa obulamu bwabwe. Wabula abalimi bakyusa ekikula ne langi y’ensigo okusobola okwewala ebitonde ebizoonona nga bazibika nga bakozesa ekirungo ekitabuddwa mu obussa,ebbumba,nakavundira,amazzi n’evvu.Wetubikka ensigo,olwo kiro 3 zokka ez’omuwemba ze zeetagibwa okusibwa ku buli yiika 11 wogeragerannya ku kiro 6 ez’ensigo ezitabikiddwa.
Mungeri yemu, kiro emu ey’ensigo,kiro nnya ez’ebbumba zetaagibwa awamu ne kiro 2 eza nakavundira ne kiro 1 eyevvu omutali kasasiro yenna.Sekula ebbumba,nakavundira n’evvu bifuuke ensaano,era ensigo oziteeke mu baafu omansireko amazzi zisobole okuweweera era otabule ebirungo ebisekuddwa oba obigatte mu kimu ku kimu osobole okugezesa ensigo.
Yongera okunnyenya ebbaafu mpola osobole okubika ensigo obulungi,era oddemu omansire amazzi ku nsigo era oyongere okuteeka ensaano ku nsigo eziwewedde.Ebbaafu ginnyenye okumala eddakiika 3 okutuusa ng’ensigo zibikiddwa bulungi era oziteeke ku tundubaali zisobole okukala era ozisiimbe nga wayisewo olunaku lumu nga zikaze.Zisimbe ng’enkuba esooka tenatandiika kubanga ensigo ezibikiddwa nnyangu okukwasagannya.
Mukumaliririza,mukusiga ensigo ennyingi kozesa ekyuma ekisiga.