Emmerezo y’ebinaazi ekakasa nti okumeruka n’ensingo ezimeruse zikula bulungi.
Nga oteekateeka emmerezo y’ebinaazi kakasa nti okozesa enkola y’okufuukirira ng’okozesa empiira ezikuba amazzi n’okufuukirira okwa matondo. Era buli kadde kebera ebirime ebirwadde kuba biyinza okulaga obubonero nga ebikoola okubeerako amabala agakitaka. Kakasa nti oziyiza omuddo ogwonoona ebimera oguba ku ttaka wakati w’endokwa eziri mu bikebe nga weyambisiba eddagala erikakasiddwa.
Okulonda ekifo n’okukitegeka
Sooka ng’okakasa nti ekifo kyolonze kikirizibwa mu mateeka okulimibwamu , kiyitamu bulungi amazzi ate nga kiseeteevu. Kikulu nnyo okunoonya emmerezo erinaanye ekifo awava amazzi okukakasa nti ofuna amazzi mu bwangu obw’ekitalo. Okwongerezaako, sawa ensiko, zimba ebifo ebiyitamu amazzi ebimala okusobola okuggyawo amazzi amangi n’okuteekewo amakubo amalungi agasobola okutambuza amangu ebikozesebwa mu kulima era teekeko ekikomera okwetoloola ekifo okuziyiza obubbi n’abantu abatetaagisa ku faamu.
Okuteekateeka emmerezo
Tandiika nga ojjuza , opakira n’akaveera akaddugavu akalina ekipimo kya cm 6 ku 9 oba ensaniya okuli ekiyamba ebimera okukula n’amazzi bulijjo. Nga omaliriza, tegeka bulungi ensaniya eziteekeddwako ebiyamba ebimera okukula nga tolesemu mabanga wakati mu nsaniya era osimbe endokwa ezimeruse mu buwanvu bwa cm 2 nga emirandira gitunudde wansi nga emitunsi giri waggulu. Awo bikka ensingo n’ettaka ttono era ozifuukirire emirundi ebiri olunaku nga weyambisa enkola y’okufuukirira okwa matondo oba ng’okozesa empiira ezikuba amazzi waggulu. Era kozesa ebigimusa ebikakasiddwa oluvanyuma lw’ensigo okumera oziyize n’omuddo ogwonoona ebimera nga weyambisa mikono.
Endabirira y’emmerezo eyaddala.
Kozesa akaveera akaddugavu akalina ekipimo kya cm 38 ku 48, kano kalina okujjuzibwa n’ekiyambako ebimera okukula era kakkatirwe. Okwongerezaako, kakasa nti ofuukirira ebirime era otegeke endokwa eziri ku lusaniya mu ngeri efanaana nga sumbusa. Oluvanyuma lw’emyezi 4 simbuliza era oteeke endokwa wakati mu kaveera akanene era ozifuukirire buli lunaku.