Okusimba ekibira lwe lugendo lwokusimba ebibira ebipya ddala awatabangako muti wadde.
Ekibira ekisimbidwa kisobola okuleetawo embeera ebisolo by’omunsiko webyeyagalira, okusaawo emirimu wamu nokufunamu okwenkulakulana eri abetoloddewo era nokwongeza nobusobozi bwa semazinga okunywa omukka omubi ogwa carbondioxide. Okusimba ekibira kulimu emirundi esatu kwekugamba, okwemeza kwoka, okusimba emiti egyokutunda wamu n’enima eyekitambuli omuli ebirime n’emiti.
Engeri z’okusimba ebibira
Okwemeza kw’obutonde. Wano ebibira bisimbibwa nebirekebwa okumala ebbanga epanvu nga tebitataganyizibwa. Bino byebisinga enkizo mu kunuuna omukka ogwa crabo nokuteekawo amaka g’ebisolo by’omunsiko kubanga wabawo ebika byemiti mingi egyenjawulo, ekireeta obusakativu obukutte nobusobozi okukwata ekitangaala.
Ebibira ebyokutunda. Wano ebibira bisimbibwa naye nga bigenderede ebintu bimu okugeza embaawo oba okukola empapula. Bino nabyo bya nkizo okunywa carbon naye bimala nebitemebwa.
Enima eyekintabuli. Kuno kwekuma emiti wamu n’ebirime oba n’okulunda ebisolo. Muno mukulu nnyo okufunamu emere wamu n’esente eri ababeera mu kitundu naye olumu kireta okusanyawo ebbibira nga batema emiti okukola amabanga omulimibibwa.
Ebisomoza wamu n’obuzibu
Okusimba emiti mu bungi kiyinza okuvaako enkozesa ye ttaka embi nga kiyinza okuleeta okulwanira ettaka wamu nokwongeza emiwendo gy’emere.
Okulonda enkola entuufu eyokusimba ekibira kikulu okukakasa nti abekitundu bafunamu.
Emiti gyetaaga okulabirirwa nga gimaze okusimbibwa okukakasa nti gikula era kino kibaamu okugikuuma abagitema nga tebali mu mateeka.