Okusimba molinga kwangu nnyo nga okozesa nsimbo. Okusimba ebirime nga okozesa nsimbo kulina emigaso ebiri egy’enjawulo.
Engeri esooka ey’okukozesa ensimbo y’eyitibwa clonal, nga muno mubeeramu okumeza ebirime nga okozesa nsimbo. Kino kitegeeza nti ekimera ekito kijja kubeera n’enneeyisa y’emu nga ekimera okwava ensimbo bwe kyali kyeyisa. Mu nneeyisa eyo mulimu emisinde kwe kikulira, endabika yaakyo mu kukula, amakungula agasuubirwa obugazi bw’ebikoola wamu n’eminyololo omubeera ebibala. Engeri eyookubiri y’eyitibwa shortened juvenile phase, nga kino ky’ekiseera mu kukula kw’ekimeraekimera we kibeerera ekito ennyo nga tekisobola kumulisa wadde okuleeta ensigo.
Okumeza ensimbo
Ebirungi ebiri mu kubeera n’ennimiro ya molinga nga okozesa ensimbo mulimu; ensimbo zonna okumerera okumu, amakungula agasobola okuteeberezeka, okukula okw’awamu nga ebimera biyambibwako ekirungo kya growth tempo ekikuza ebimera, wamu n’okukendeera kw’ebbanga wakati w’okusimba n’okuteekako ebibala.
Era, molinga asobola okulimwa nga okozesa ensimbo eziteekeddwa obutereevu mu ttaka mu nnimiro, oba okumulimira mu mikebe mw’osimba ensimbo.
Ensimbo ezisimbiddwa obutereevu mu nnimiro
Okuteeka ensimbo obutereevu mu ttaka mu nnimiro kuteekwa okukolebwa mu mbeera y’obudde ennungi awamu n’embeera ennungi ezisibozesa okumera, oba n’okwongerezaako okufukirira mu biseera by’omusana omungi. Ensimbo ziba ziweza obuwanvu bwa ssentimmita wakati w’asatu n’ataano n’obunene nga waakiri buli wakati wa ssentimmita ssatu n’ettaano.
Ensimbo zisimbibwa butereevu mu nnimiro enteeketeeke era ne zikuumibwa nga we ziri waweweevu, okutuusa lwe zireeta ebikoola n’emirandira. Okutemaatema ekirime okufuna ensimbo kuteekwa okukolebwa mu biseera ebirime mwe bikulira era ensimbo ozifune ku kimera ekiramu obulungi.
Ensimbo ezisimbiddwa mu mikebe
Ensimbo ezisimbwa mu mikebe ziba ntonotono era ziba zirina obungi kwe zikoma. Ensimbo zirina okuba n’obunene obutasukka ssentimmita emu, era ensimbo zirina okuba n’obuwanvu obuli wakati wa ssentimmita abiri n’asatu. Ensimbo zirina okusimbibwa mu ttaka eririmu ebigimusa bya coir ebitundu ana ku buli kikumi, ekigimusa kya peat ebitundu ana ku buli kikumi, wamu n’ebitundu abiri ku buli kikumi ebya vermiculite.
Ekirungo ekimeza emirandira kisobola okuteekebwa omusimbiddwa ensimbo okwanguya ku kumera kw’emirandira. Nga omaze okuteekamu ensimbo, emikebe oba ebisuwa biteeke mu kifo ekibikke kyokka nga kirimu ekitangaala okusobola okukuuma obuwewevu mu bisuwa. Jjukira okugumya emirandira gy’ebimera ebito nga obiteeka mu musana nga tonnaba kubisimbuliza kubitwala mu nnimiro.