Ensigo eziwakisiddwa nga ebikozeseddwa bivudde ku bimera bya njawulo teziyinza kufaananira ddala kimera kwe zaggibwa, naye tusobola okukozesa enkola eyookubiri ey’okumeza ebirime, erimu okumeza emirandira ne gigattibwa ku mirandira gy’ekimera ekikulu oba kiyite clonal root stock.
Okusimba nga okozesa emitunsi egimeruse okuva ku makundi g’ensimbo kuddirira enkola ey’okumeza emirandira ku nsimbo. Mu kino ensigo ekozesebwa okutandika okusimba nga bwe kiri mu kumeza emirandira ku ndokwa. Endokwa esimbwa n’emera n’egattibwako omutunsi oguggiddwa ku kimera ekikulu ekirina emirandira gy’ekirime ekirimiddwa nga kimaze kusunsulwa eky’ekika kya juke 7 oba Deucy. Ebimera oluvannyuma biteekebwa mu kisenge ekikutte enzikiza ekireetera emitunsi okumerera ddala. Ekimera kiggye mu kisenge ekikutte enzikiza nga emitunsi giwezezza obuwanvu bwa ssentimmita abiri, ssaako ekirungo ekimeza emirandira era kiteere ddala awo wansi we wabigattira.
Okuzaaza ebirime nga bifaanaganira ddala
Bikka endokwa n’ettaka oleke nga ekitundu ekya waggulu eky’omutunsi nga kiyiseemu. Ekimera kiteeke mu kiyumba omulimirwa ebimera oba giyite greenhouse kisobole okuguma awamu n’okudda engulu oba okukakata.
Gattako ekitundu ekyokubiri okuva okuva ku kirime ekyalimwa nga kimaze kusunsulwa, era kuno emitunsi kwe girimera okutuuka okuvaamu ekika ky’ebibala omulimi by’ayagala. Ekyagattibwako ekyasooka ne kibikkibwa ettaka kijja kuyisa emirandira egyamera okuva mu nsigo eyasimbwa. Enkola ey’okuzaaza ebirime obunemu ebifaanaganira ddala etwala obudde era yeetaaga ebikozesebwa eby’enjawulo.
Emiganyulo emikulu
Omuganyulo omukulu oguli mu kuzaaza ebimera nga bifaanaganira ddala guli nti omulimi abeera amanyi enneeyisa yennyini ey’emirandira gy’ekimera kubanga ekitundu ky’ekimera ekyasooka okugattibwa kyakolebwa na kukozesa bikozesebwa ebizaaza ebirime nga bifaanaganira ddala.