Olw‘okubeeranga kirime ky‘amugaso, okulima obutungulu kukosedwa emitendera emibi egiyitibwaamu ekiretede okukendeera mu makungula g‘obutale.
Okulonda ekifo, obutungulu bwagala ettaka eriyina obugimu era nga lirinaanye ekifo awali amazzi ag‘okufukirira. Okuteekateeka ettaka: Lino liyina okubeeranga liri 1.2 m*10*0.3 m mubuwanvu era nga ligimu bulungi. Simba obutungulu mu ttaka eririmu amazzi agamala era nga weriri waliwo obunyogovu okusinziira kukika ky‘abwo. Osimba obungi bw‘obutungulu bwa 5 – 8 kg/ ha nga osimbye buterevu mu nimiro ne 3-5 kg/ ha nga osimbuliza.
Okusiga n‘okusimba
Siga ensigo mu merezo eri awali ekisiikirize era oziwe omusana oluvanyuma lw‘okumeruka mu naku kumi nga tonaba kusimbuliza: Simbuliza nga obutungulu buli 10-15 cm mubuwanvu mu mabanga ga 25*8 cm era mubuwanvu bw‘omuttaka bwa 3 cm era fukirira bulijjo. Buterevu simba endokwa mu mabanga ga 25*8 cm.
Okukozesa ebigimusa. Teekamu obungi bwa 25-30 t/ ha obw‘ebigimusa by‘obutonte, kabala mu bungi bw‘ebigimusa bya 300kg eza ammonium sulphate, 400kg eza potassium sulphate ne 400kg eza single super phosphate oba 250 – 300kg eza NPK ku kipimo kya ratio of 15:15:15 / ha.
Ekirungo kya Sodium kiyamba mu kukula kw‘ebikoola, phosphorus ayamba mukukula kw‘emirandira era ne potassium ayamba okutangira ebirwadde
Ebiwuka n‘enddwade z‘obutungulu Onion pests and diseases
Mubiwuka ebitawaanya obutungulu mulimu bino mulimu onion thrips, beet army worm, onion fly, stem and bulb bulb nematodes.
Eddwade z‘obutungulu mulimu smug, down mildew, onion yellow dwarf virus, purple blotch, white rot or bulb rot.
Kozesa ensigo ezikakasidwa, wewale okulegama kw‘amazzi, okulambula enimiro entakera, okukyuusakyusa ebirime, kozesa eddagala apply chemicals, kaza ebimera mangu era okungule mu naku 140 nga ebikoola bimaze okukala obulungi.