Kawumpuli tawonyezebwa era bw‘ebulwadde obuky‘asinze okutta enkoko.
Enkoko eziyina kawumpuli ziraga obubonero buno wamanga; kalimbwe w‘azo afuuka w‘akiragala era y‘ekwaata kuby‘oya by‘azo, munda mubiwawaatiro by‘azo mulimu obukuubo obw‘akiragala, Enkoko zinyiza era bweziggulirwa, zisigala mukifo kimu era tezitera kutambula kulw‘obunafu by‘amagulu. Singa obwongo buba bufunye obuzibu, ensingo y‘enkoko y‘eweta n‘ebiwawaatiro nebiralambala.
Ebivirako n‘entangira y‘ekirwadde
Kawumpuli aretebwa akawuka akasirikitu akayitiwa virus era kasasaanyizibwa enkoko enddwadde wamu n‘ebinyonyi ebirala. Abantu ababeera bakutte kunkoko enddwadde nabo basobola okusasaanya obulwadde. Kyamugaso okutegeera nti kawumpuli asobola kutangirwa butangizi wabula si kuwonyezebwa.
Kawumpuli asobola okutangirwa nga tugema kubanga kiyamba okw‘ongera amaanyi mu mubiri. Enkoko ezigemeddwa tezirwaala singa obulwadde bubalukawo. Newankubade, eddagala litwaala nga wiiki emu okusobola okukola singa obeera omaze okugema.
Eddagala erigema kawumpuli
Mukukozesa eddagala erigema erya LaSota kakasa nti enkoko eny‘ota eziruma. ebinyero biyina ekugibwaamu munyumba ggulo limu nga tonaba kugema. Ebinyonyi tebiyina kubeera namazzi okumala esaawa 2. Bwekiba kisoboka ziwe emere enkalu okusobola okukakass nti enyoota eja kuba nga eziruma.
Eddagal lya LaSota erigyabuluddwa liyina okukozesebwa mubanga lya saawa 2 kubanga ly‘ononeka mangu. Kuddagala lya 1-2 enkoko zigemebwa nakutonyeza etondo muliiso era lisinga kuweebwa ku makya.
Okulabula
Eddagala erisigaddewo lisaanye liyiwibwe mu kabuyonjo ey‘ekinnya era yokya ecupa zeddagala enkalu. Okw‘oza ebintu ebikozeseddwa mukugema nakyo ky‘amugaso. Eddagala teriyina kukozesebwa singa liba liyiseeko ebanga mukuligula.