Enddwade kyekimu kubisoomooza ebiri mu bulunzi bw’ebinyonyi era sotoka y’omu kubwo. Tusobola okutangira sotoka nga tweyambisa obutonde oba emiddo egy’obutonde.
Okutangira sotoka mungeri ey’obutonde mukisibo kyo, ebinyonyi byo biwe amazzi g’ebinazi kulunnaku olusooka. Kulunaku olwo 2,3 nolwo 4, ebinyonyi biwe katungulu ccumu nga agatiddwaamu entangawuzi; kino kiyamba ebinyonyi okukula obulungi . Ku wiiki emu, ebinyonyi biyina okubeera nga bizitowa emirundi 4 kubuzito bweby’alina kulunnaku olusooka. Oluvanyuma lw’okwalulwa, kakasa nti obukoko tobulumya njala. Buwe emere buli kiseera ate era okuume ebbugumu erimala.
Omubisi gw’omululuuza
Omululuuza gukola bulungi mukujanjaba n’okutangira sotoka. Omujaaja nagwo guyina obusobozi okulw’anyisa obuwuka obusirikitu obuyitibwa bacteriawamu n’okwongera amanyi mukulwanyisa obulwadde. Bino nga biggatiddwa wamu bisobola okukola ku sotoka.
Okukola omubisi gw’omululuuza, ssengeja omubisi. Osobola okussengeja omulundi gumu bwoba okozesa binweero eby’abulijo wabula bwoba okozesa bizungu, gabula ebitabuddwa nga wakabikamula oba obitereke mu firiigi. Okugabula omubisi gw’omululuuza eri obukoko, tabula obunji bw’omubisi bwa 20ml mu liita 3 ez’amazzi.