Abalimi basobola okufuna mu kulima singa embeera eriwo yeyo ekirime gye kyetaaga oku kula obulungi mu kiseera ky’okulima mu mwaka.
Okumala ebyasa ebiwera abalimi babadde bakozesa nnyo obubonero obw’obutonde mu kusalawo ddi lwe basimba era obubonero bunno mulimu ebimuli ebiwagguuse n’ebinyonnyi nga bizimba ebisusunku.Obubonero bunno buyamba abalimi okumannya ekiseera ekirungi eky’okulimira mu ekirime ekimu.
Engeri y’okutegeera mu ekiseera ky’okulima ekituufu.
Mu kusookera ddala embeera y’obudde tugirabira ku bire era n’ebikozesebwa ebirala ebigunjuddwa wo okuli apps n’emitimbagano.Obubonero obw’obutonde bwa mugaso nnyo mu kuteebereza embeera y’obudde mu kabanga akawanvu wabula ate apps ziyamba okumannya entebereza y’obudde buli lunnaku lwa wiiki.
Mu ngeri y’emu ,obubaka busobola okuzibwa obugya singa oba olina omutimbagano era entebeereza eva ku App eba ntuufu singa okumpi ku kyalo wabeera wo ekiffo webateeberezebwa embeera y’obudde.App ebeera ku simu gwe y’esinga kubanga ekuyamba okumannya embeera y’obudde mu kifo mwoli.
Funa App okuva ku mutimbagano gwa play store ,gise mu simu era ogigule olonde ekifo webeera.Wabula okusobola okutegeera e namba ekuwereddwa okuva ku App,kwata awali akabonero akaliko namba 3 ot waggulu ku mukono ogwa ddyo ku simu yo era olondewo ekipimo ky’enkuba mu mm n’ekipimo kya spiidi y’empewo kya km/hr .Era ogulewo awasetingibwa olondewo ebipimo(units) okyuse ekipimo kya fahrenheight olonde wo ekipimo kya degrees centigrade.
Mu kumaliriza ,obubaka bw’entebereza y’obudde ey’ekitundu ekimu mu lunaku osobola okugiraba ku screen y’esimu era esobola n’okulaga entebereza y’obudde ey’ennaku omusanvu ezidako.