Emmerusizo y‘omuceere ennongooseemu erimu okuteekateeka endokwa mu mutendera kwettaka ettabule eritegekeddwa nga wansi wagulumivu.
Enkola eno ey‘okulima omuceere erina emigaso egiwera okusinga enkola y‘okulimira mu kifo ekyetadde omuli okwetaaga ettaka ettono ery‘okulimirako, ensigo ntono, ebigimusa bitono n‘amazzi, obwangu mu kwawula endokwa n‘okumera amangu. Wabula amabanga mu kusimbuliza galina okuba ga 20cm wakati w‘ebirime era n‘emmerusizo erina okuba ya 50cm obuwanvu, 30cm obugazi ne 4cm mu kukka. Ebigogo by‘ebitooke bisobola okukozesebwa ng‘emmerusizo.
Enkola z‘okuteekateeka
Bulijjo kozesanga ensigo ez‘omutindo omulungi kubanga kiyamba okukendeeza ku nsigo ezisimbibwa, okumeruka mu ngeri efaanagana, kikendeeza ku kuddamu okusimba, omuddo ogwonoona ebirime gukendeera, endokwa ziba ngimu n‘amakungula geeyongera.
Ekirala merusa ensigo okumala essaawa abiri mu nnya, zikenenulemu amazzi era ozibikke okumala essaawa abiri mu nnya endala okuzikuuma nga zirimu oluzzizzi.
Okwongerezaako, tabula ettaka, ebigimusa ebiruddewo n‘obukuta bw‘omuceere ku bungi bwa kigero kya 7:2:1 okwongera ku birungo eby‘etaagibwa mu ttaka.
Teekateeka emmerusizo ng‘olonda ekifo ekiseeteevu osaasaanyewo endagala oba obuveera okwewala emirandira okuyingira mu ttaka.
Oluvannyuma teekawo ettaka ettabule n‘emmerusizo kungulu kw‘endagala oba obuveera, siga ensigo emmeruse mu ngeri efaanagana, masira ettaka era okkatire mpolampola.
Amangu ddala mansira amazzi ku nsigo ezisigiddwa era oggyemu emmerusizo. Ddamu enkola eyo okutuusa ng‘ennimiro ejjudde.
Kakasa nti ofukirira emmerusizo ebikkiddwa buli lunaku okumala ennaku ttaano, kuuma emmerusizo obutakosebwa nkuba ya maanyi. Ennaku ttaano oluvannyuma lw‘okusiga ggyako ekibikka era ojjuzeemu amazzi era okakase nga galina obungi bwa 1cm okuva wansi okwetooloola emmerusizo.
Ekisembayo ggyamu amazzi ennaku bbiri nga tonnasimbuliza era omansire ekirungo kya urea mu ndokwa ezitalina bulungi kirungo kya nitrogen.