Muwogo kirime kya ttunzi nnyo mu bitundu eby‘enjawulo mu Afirika naye amakungula ebiseera ebisinga matono ku kisubiribwa n‘olwekyo ennimiro erina okutegekebwa obulungi okusoboola okwongera ku makungula.
Muwogo alimibwa ku ttaka esseetevu oba ettaka ettuume okusinzira ku nkula y‘ettaka naye mu ngeri zonna ettaka lirina okuteekebwateekebwa obulungi. Kino kirina kukolebwa mu budde bwekyeya nga enkuba tenatandiika.
Okutema n‘okukuba amavvunike.
Mu kuteekateeka ettaka olina okutandiika okutema n‘okutema ettaka amavvunike. Okutema amavvunike kulina okukka ennyo wansi okusobola okuyikuula ettaka era lirina okuba nga lya 15cm. Ettaka lirina okuteekebwateebwa nga sseetevu oba nga ttuume okusobola okukakasa nti emirandira gigejja bulungi bwegiba gikuze.
Okutegeka ettaka esseetevu oba ettuumo kisinzira ku kika ky‘ettaka . Simba muwogo mu nnimiro erina ettaka esseetevu singa ettaka lya musenyu naye singa ettaka likwatira okugeza nga lya bumba oba kiwuga nkofu(sandy loam) ttuuma ettaka lyo.