Okutereka obulungi emere y’empeke wamu n’empeke eziva mu bimera ebigatta ekirungo kya Nitrogen mu ttaka nga okozesa ensawo ensibe obulungi.

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=1KIO-P1ZsL8

Ebbanga: 

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2022

Ensibuko / Omuwandiisi: 

SAWBO™ Scientific Animations Without Borders
Okutereka obulungi emere y'empeke wamu n'empeke eziva mu bimera ebigatta ekirungo kya Nitrogen mu ttaka kikendeza okufirwa oluvanyuma lwokukungula, osobola okutereka kasooli, omuceere, ebijjanjalo, wamu n'ebika by'empeke ebirala bingi mu byetuyita obukutiya. Bwoba otereka empeke enkalu wamu n'emere eva ku bimera ebigatta Nitrogen mu ttaka wewale ebiwuka, ebitonde ebirya ebimera wamu n'empumbu okumerako nga obisapika mu nsawo ezisitulwa, ensawo ey'emibirimu esatu etayingiza mpewo yakolebwa mu America ku tendekero lya Purdue University.
Ensawo ezisitulwa tezikozesa ddagala kolerere era zikuuma empeke zo kubanga zikolebwa mu tiriyo etuufu era nga ngumu ekimala obutayitamu mpewo. Ensawo zino ziberamu ensawo bbiri munda nga zituzibwa nga ate kungulu elukibwa bulunkibwa. Nga okozesa ensawo zino ezitayisa mpewo , osobola okutereka obulungi  emere y’empeke okumala emyezi egiwera, owe ab’omumaka go emere etalina bulabe , ensigo eyokozesebwa okusimba mu maso wamu n’ensigo ezokutunda bwoba osazewo. 

Okukozesa ensawo ezisitulwa

okukozesa ensawo ezisitulwa  okw’emitendera ena, kebera, jjuza, sibako, tereka. Okusooka, kebera ensigo yo okukakasa nti ekazibwa bulungi omusana era nga temuli biwuka, ttaka oba bituli. Yawula era wekebejje emigo gyona esatu egy’ensawo olabe nga tewali watagulukuse, wayulise oba ebituli.  Kimanye nti nobutuli obuto ddala buyingiza ebivuka era n’empumbu. 
Jjuza empewo mu buli muggo kwejjo ebiri egyomunda mu nsawo era okwata oluyi olutali luzibikire okukakasa nti tewali mpewo etoloka. Kakasa nti ensawo nkalu era zitukula  era tozikozesa  ogumu ku mugo gwomunda bweguba muluyifu oba nga gutobye. 
okujjuza ensawo zo sooka oteeke ensigo nto mu kaveera, olwo akaveera ako okateke mu kaveera akokubiri olwo bwombi obutuuze mu kisawo ekyebweru. . weyongere ojjuze akaveera k’omunda  nga bwonyenya okusobola ensigo okwekatira era nokugyamu empewo yonna. Tojjuliza ddala nsawo paka ku muggo okusobola okugisiba. Siba akaveera akasooka nga okanyoola paka nga empewo yonna evudemu, olwo okanyweze n’oluwuzi. Jjukira nti wetaaga okugyamu empewo yona gyosobodde era kakasa nti okanywezeza ddala nga bwekisoboka  naddala nga opakidde ensigo ey’empeke entonlo nga opupokya. 
Sibako akaveera akokubiri mu ngeri yemu nga onyoola waggulu paka nga kanywedde okutuuka kukali munda olwo ogezeko okusabiza oluguwa kakasa nt i kanywedde nga bwekisoboka. 
Sibako ekisawo kywa wabweru ekiruke mu ngeri yemu nga obuveera nga onyoola waggulu paka nga kinywedde okutuuka ku buveera bw’omunda olwo osibise oluwuzi okakase nti lunywedde bulungi nga bwekisoboka. 

Okutereka

Totereka kutiya mu musana ,okuume etterekero nga liyonjo okwewala emese, towesigamya nsawo ku bisenge era kiba kirungi obutasumulula nsawo nga ziterekebwa, Bwoba olina okuzisumula olwensonga yona, kakasa nti ozisibako mangu ddala nga ogoberera emitendera egyo okukundeza empewo eyingira. 
 Kakasa nti buli kaveera ku busatu kasibidwa bulungi. Okutwalira awamu, ensawo zisobola okuwangaala okusuka sizoni emu nga kitera kubeera sizoni satu, wabula kikulu nti obukutiya tebulimu kituli wadde bwoba ogenda kudamu okubukozesa, nolwekyo wekebejje nobwegenderza.  Bwoba tokyasobola kubukozesa kuterka nsigo olwokuyurika oba ebitulu osobola okubukozesa ku mirimu emirala. 

Ebirungi by’okukozesa obukutiya obusitulwa

Okukozesa obukutiya obusitulwa okutereka ensigo kikuuma ensigo okuva eri ebiwuka n’empumbu n’osobola okutunda empeke ku bbeeyi eyawaggulu ensigo bweba ekendedde ku katale. Obukutiya bunno bukusobozesa okutereka empeke zo nga tokozeseza ddagala litta biwuka ekikuyamba okukekereza sente era nga tezirina bulabe kulibwa. 
                                             
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:30Okutereka obulungi emere y'empeke wamu n'empeke eziva mu bimera ebigatta ekirungo kya Nitrogen mu ttaka kikendeza okufirwa oluvanyuma lwokukungula, osobola okutereka kasooli, omuceere, ebijjanjalo, wamu n'ebika by'empeke ebirala bingi mu byetuyita obukutiya.
00:3101:30Ensawo ezisitulwa tezikozesa ddagala kolerere era zikuuma empeke zo kubanga zikolebwa mu tiriyo etuufu era nga ngumu ekimala obutayitamu mpewo.
01:3102:32Jjuza empewo mu buli muggo kwejjo ebiri egyomunda mu nsawo era okwata oluyi olutali luzibikire okukakasa nti tewali mpewo etoloka. Kakasa nti ensawo nkalu era zitukula era tozikozesa ogumu ku mugo gwomunda bweguba muluyifu oba nga gutobye.
02:3303:03Totereka kutiya mu musana ,okuume etterekero nga liyonjo okwewala emese, towesigamya nsawo ku bisenge era kiba kirungi obutasumulula nsawo nga ziterekebwa, Bwoba olina okuzisumula olwensonga yona, kakasa nti ozisibako mangu ddala nga ogoberera emitendera egyo okukundeza empewo eyingira.
03:0404:04Kakasa nti buli kaveera ku busatu kasibidwa bulungi. Okutwalira awamu, ensawo zisobola okuwangaala okusuka sizoni emu nga kitera kubeera sizoni satu,
04:0405:57Okukozesa obukutiya obusitulwa okutereka ensigo kikuuma ensigo okuva eri ebiwuka n'empumbu n'osobola okutunda empeke ku bbeeyi eyawaggulu ensigo bweba ekendedde ku katale.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *