Okutta enjoka mu nte ezivaamu amatta kwamugaso nnyo mu kwewala ebitonde ebinnyunyusi by’omusaayi ebibeera munda ,wabula ekiseera ky’okutta enjoka kyamakulu nnyo mu kwewala ebitonde ebinnyunyusi by’omusaayi.
Waliwo enjoka z’omunda ezenjawulo okuli enjoka ez’omubyenda, eziyitibwa “round worms” ,”Tape worm”nendala nyingi ezikosa obulamu bw’ebisolo n’olwekyo zetaaga okwewalibwa okusobola okufuna amakungula agawera okuva mu bisolo,
Ekiseera ky’okutta enjoka
Bulijjo kakkasa nti ensolo enkulu oziwa eddagala eritta enjoka emirundi 2 mu mwaka
Mukugatako,obuyana obutanaweza mwaka 1 bulina okuweebwa eddagala buli luvannyuma lwa wiiki 2 ne buli luvannyuma lwa mwezi gumu okumala emyezi mukaaga kubanga bukwatibwa nnyo enjoka.
Mukwongerako,obuyana obukuze buwe eddagala ly’enjoka mu buli myezi 3.Kyamugaso nnyo okutta enjoka mu biseera by’enkuba nga tebinatuuka oba nga biyiseeko..
Mu kumaliriza,kakkasa nti okyusa eddagala eritta enjoka ng’okozesa ebiseera
Ebirungi ebiri mu kutta enjoka.
Okutta enjoka kulongoosa obulamu bw’ebisolo,bwongeza ku makungula agazivaamu era kwongeza ku nkula y’akayana
Mukugatako, kwongera ku mikisa gy’okuwaka naddala mu nsolo eziyitibwa heifers ekiviirako ebisolo okweyongera .
Mu kumaliriza okutta enjoka kutumbula eddagala erigema okola mu bisolo.