Olw’emigaso gy’emmere erimiddwa mu ng’eri ey’obutonde okweyongera ,abalimi bettanide nnyo okulima emmere eyo mu nsi yonna.
Abalimi nga bakyasomozebwa mukufuna ebbeeyi y’emmere eno mu katale,era babulwa obukodyo newa webayinza okufuna abaguzi.Mu kwe kkenennya ennima y’emmere mu ngeri ey’obutonde,abalimi abakwagala balina okukola nga bateeka wo entekateeka ey’okutuusa mu emmere eyo ewaka.
Engeri y’okuleeta mu emmere
Sooka ofune abalimi mu kitundu abetanira engeri y’okulima emmere mu nkola ey’obutonde okusobbola okuteekawo entekateeka y’okutuusa emmere mu makka g’abantu.Era buli ekiseera ekisimba nga tekunatuuka,teekateeka olukungana n’abalimi banno mukole okusalawo ku kulima enva endiirwa n’okulaba nga mu kendeeza ku kudingana.Londa ku balimi banno omu oba babiri obawe obuvunannyizibwa bbw’okunonya akatale.
Abaguzi basaba emmere gyebagala okubatuusako era abalimi bagunjawo App ku ssimu abaguzi gyebakozesa okusaba byebagala.
Mu kwongerako ,nga wabula olunaku lumu okutwalira emmere oba ku lunaku lwennyini,buli memba aleeta amakungula agamulagiddwa mu kifo eky’okumpi ekyanguyirwa buli omu okutuuka ko.Amakungula olwo gayozebwa era okusunsulwa kukolebwa era oluvannyuma amakungula ga buli mulimi agali ku mutindo era mu bungi gawandiikibwa.
Mu kwongerezaako,emmere era esunsuddwa eteekebwa mu bisibibwa mu ebiyonjo nebitwalibwa eri abaguzi.Wabula,kulunaku lw’okutwala emmere eno eri abaguzi,banno basasula mu nsiimbi enkalu oba nga bakozesa essimu .Obubinja bw’abalimi banno obumu busaba obuyambi okuva eri obubiina bw’abavubuka obuli mu kibuga.
Abanoonya akatale bakunganya enssawo okuva eri baguzi okusobola okusaamu emmere buli wiiki 2 oba omulundi gumu mu mwezi .Ate ku nsonga ezikwata ku mutindo gw’emmere okuva eri abaguzi,abamemba batuula nebagonjoola ensonga.