»Okuzaaza obumyu«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/breeding-rabbits

Ebbanga: 

00:13:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2017

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Songhai
»Kisaana okufuna enkola ennungi okukakasa nti obumyu bwo buzaala bulngi, kubanga kirimu emiganyulo mingi. Bw‘okozesa enkola ennungi, obumyu obukazi obuzaala bujja kuba bulamu era buzaale obumyu obuto bungi bw‘osobola okutunda ku bbeeyi ennungi. «

Obumyu nsolo ezizaala ennyo era zisobola era busobola okuzaala obumyu amakumi asatu buli mwaka bwe kaba kalabiriddwa bulungi. Wabula, okuzaala kwabyo tekusinziira ku kye bulya kyokka, bwetaaga n‘okulabirirwa obulungi awamu n‘enkola ez‘okuzaala busobole okuzaala naawe osobole okutunda ku bbeeyi ennungi.

Okulondamu olw‘okuzaaza

Akalume kalina okuba nga kalinnyira nnyo era nga kalina ensigo z‘obusajja ennungi, nga kaweza waakiri emyezi nga mukaaga oba munaana n‘obuzito bwa kkiro nga bbiri ku ssatu. Akamyu akakazi kalina okubeera n‘emigogo ena egy‘ennywanto, nga kalamu bulungi era nga kazaala emirundi mingiko, nga ka myezi mukaaga ku musanvu era nga kazitowa kkiro bbiri.

Mu kuzaaza obumyu nga bwonna buva ku ddundiro lyerimu, akalume tekalina kukkirizibwa kulinnyira kakazi bwe buzaalibwa awamu nga kino kiyinza okubuleetera okusaatawala n‘ebitundu ebizaala ebitaakula bulungi mu bwana obuba buzaaliddwa. okuziyiza okuweeka, akalume akato n‘akakazi bulina okwawulwa okuva ku myezi esatu.

Obulamu bw‘obumyu

Akakazi n‘akasajja bulina okuba obulamu obulungi, obulume obutali bulungi mu kulinnyira bulina okusikizibwa obulungi mu kulinnira. Obulume obuleeteddwa mu kuweeka nga buva mu ddundiro eddala bulina okwawulwa okuziyiza okusaasaana kwonna okw‘endwadde. Akakazi akali mu mbeera y‘obulamu ennungi katambulira mu kayumba kaako nga tekaddukana, tekalina bubonero bwa lukuku, oba ebiwuka ebikanyuunyunta.

Okuweeka/okulinnyira

Obukazi bw‘akamyu akakazi bwe bufuna langi emmyufu, akakazi kabeera kasaze era kaba kasobola okuweeka akalume. Okuwakisa obumyu, akakazi kalina okutwalibwa mu kayumba k‘akamyu akalume ku makya oba akawungeezi. Akamyu akakazi akaali kaweeseeko kalina kuweeka akalume akataweekangako.

Akakazi bwe kagaana okuweeka omuntu talina kulemerako okwewala okunuubuka ku bitundu by‘akasajja ebizaala. Akakazi bwe kakkiriza, buweeke emirundi ebiri nga tonnaba kuggya kakazi mu kayumba k‘akasajja okwongera ku mikisa gy‘okuwaka.

Okukebera eggwako

Eggwako likeberwa oluvannyuma lw‘ennaku kkumi na bbiri ku kkumi n‘ennya nga opima obuzito, obulume obwalinnyira busobola okuleetebwa ne bubeesabeesa eggwako. Enkwata etali nneetegekere oba enkwata embi esobola okuviirako eggwako okuvaamu. Olunaku lw‘okuzaala luwandiikibwa ku lupapula okulondoolerwa.

Akasanduuko akakola ng‘ekisu mu kayumba kalina okuteekebwateekebwa nga akakazi akasuubirwa okuzaala tekannaba kuzaala. Akasanduuko kalina okukuumibwa nga kayonjo n‘eddagala eritta obuwuka.

 

 

 

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:20Obumyu busolo obuzaala ennyo era buzaala obwana amakumi asatu buli mwaka.
01:2102:25Enzaala ennungi ey‘obumyu etandika na kuweeka kamyu akalume n‘akakazi obulungi mu kuzaala.
02:2603:00Okuzaaza akamyu akalume n‘akakazi nga buzaalibwa wamu kirina okuziyizibwa.
03:0103 :30Ennume etakola bulungi mu kuwakisa esikizibwe ezikolera ddala obulungi.
03:2104:30Akamyu akakazi akasaze kasobola okutegeerwa nga obukyala bwako butera okumyuka.
04:3104:55Akamyu akakazi kalina okutwalibwa mu kayumba k‘akamyu akalume okuweeka.
04:5606:40Akakazi bwe kagaana akalume, omuntu talina kulemerako. Akakazi kalina okukkirizibwa okuweeka emirundi ebiri. I
06:4107:30Akakazi kalina okuweeka ku makya ddala oba olweggulo nga obudde buwungedde.
07:3107:55Ennume zirina okulinnyira enkazi emu buli lunaku oba okulinda essaawa kkumi na bbiri nga tezinnaba kulinnyira kakazi kalala.
07:5609:15Eggwako lirina okukeberwa oluvannyuma lw‘ennaku kkumi na bbiri ku kkumi na nnya oluvannyuma lw‘okuweeka.
09:1610:50Akasanduuko akakola ng‘ekisu kalina okutegekebwa nga akakazi tekannazaala era kakuumibwe nga kayonjo.
10:5113:00Ekifunze.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *