Emizinga gy’enjuki gye gimu ku bintu ebyetaagisa mu kulunda enjuki era nga gyabika bingi, nga ekimu ku byo kye kiyitibwa Langstroth.
Amabanga agakakasiddwa mu mizinga gy’enjuki galina kuba nga gali wakati wa mm 8 ne 10 kino kliyamba abalunzi b’enjuki okuteeka obubaawo mu mizinga kisobozese okulabirira obulungi enjuki. Kikirizibwa okukozesa emizinga egisobola okuggyibwamu obubaawo. Emizinga oba ebbokisi gibeera n’obubaawo obuteekebwako obuli wakati wa 8 ne 12 naye obuwanvu buyinza okwawukana. Ebisanikira ebivaako bikozesebwa ebiseera ebisinga kubanga bikiriza emizinga okugattibwa awamu ate embaawo za wansi ziba n’enkana n’ebbokisi okugyako omulyango oguyingira gweyongerako katono ebweru mita 25 zokka.
Ebintu ebirala ebikola omuzinga
Ebikola omuzinga ebirala mulimu ekiziyiza nnabakyala w’enjuki okugenda ewali omubisi, ebinyweza omuzinga gubeere wamu era bino oluusi biyinza okuba akagoye oba akasiba akaggumu.
Emizinga oluusi gikolebwa mu mbaawo oba ebintu bya pulasitiki . Ebikola emizinga bisobola okugulwa okuva mu kibiina kya balunzi b’enjuki naye kyamakulu nnyo okusigala ku ngeri emizinga gye gikolebwamu.
Singa oba ogula ebintu ebikozeseddwako, kakasa nti ebikozesebwa byonna birina ekipimo ekirambikiddwa.
Okutegeka ebikozesebwa mu kukola omuzinga
Okutegeka ebikozesebwa mu kukola omuzinga, weetaaga ennyondo,sitapuli, emisumaali,screwdriver ne screw.
Nga omalirizza okubitegeka , embaawo zirina okuba nga zikuumibwa nga okozesa ekirungo ekizitangira okwonooneka. Obubaawo bwa wansi, ebisanikira, ebbokisi birina okusigibwa ku njuuyi zombi munda n’ebweru okusobola okuzikuuma.
Obubaawo obuteekebwako buyinza okuba obw’omuti oba obwa pulasitiki naye wabula singa buba bukoleddwa nga bwa pulasitiki, bulina okusiigibwa ne wax w’enjuki afumbiddwako nga okozesa bulaasi oba akozesebwa mu kusiiga .