Okusimba ekintabuli ebirime ne mucuna kyongera obugimu muttaka, okwongeramu ekirungo kya Nitrogyeni kwossa okwongera ku makungula gaffe emyaka gyonna ate ng‘abikka n‘ettaka.
Abalimi abamu batera okusimba muwogo wakati mu kasooli naddala sizoni esooka. Bwosimba kasooli buli sizoni, ettaka lituuka nelikoowa amakungula negakemdeera.
Ebikwata ku mucuna
Mucuna agwa muluse lw‘eebirime ng‘ebijanjaalo ebisika nitrogyeni mumpewo nebimussa muttaka n‘emirandira gyabyo ng‘ekirungo. Ekirungo kino kisinga kussibwa munsigo n‘ebikoola. Ebirime ng‘ebijanjaalo bwebikungulwa bigenda n‘ekirungo kyonna ettaka nerisigalirawo kyokka ye mucuna engeri abantu abasinga gyebatettanira kulya nsigo ze asigalamu munnimiro n‘agimusa ettaka.
Mucuna alanda munnimiro n‘abikka ettaka olwo natta omuddo ogw‘obulabe nga etteete ne kayongo.
Engeri y‘okusimbamu mucuna mu kasooli
Mucuna asobola okusimbibwa munnyiriri za kasooli nolwekyo lekawo ebbanga lya sentimita 80 wakati w‘enyiriri, ate era lekawo ssenimita 40 okuva kukikolo ekimu okudda kukirala. Weyambise obuguwa obulambiddwa okukakasa ebipimo. Ssimba empeke 2 mukinnya okwewala kasooli okuyoolana, tosimba mucuna nga tewannayita nnaku 60. Nga tonnasimba mucuna sooka ofukirire ennimiro.
Siga kkiro 6o eza mucuna buli hekiteya okukakasa nti ettaka lyonna libikkiddwa. Simba ensigo bbiri eza mucuna mu buli kinnya mubanga lya sentimita 40 okuva kukinya okudda kukirala munyiriri za kasooli.
Oluvannyuma lw‘okukungula kasooli, mucuna agyakusigala ng‘akula okutuusa sizoni y‘enkuba lweggwayo. Mucuna bwabikka ettaka avunda nakola obugimu n‘ettaka nerifuna obunnyogovu.
Okusinziira ku muddo oguba gumeze, osobola obutafuulafuula ttaka n‘osimba busimbi kasooli.