Ebijanjaalo ebiranda bibala emirundi esatu n‘okusingawo, ate nga bisinga ebijanjaalo ebitalanda okuwooma. Naye emijongozi, zisobola okwonoona amakungula. Eno yengeri eyokwanganga ebinyonyi. Emijongozi biba binyonyi bitono nag byakitakataka oba kivuuvu nga bulina obunsuti obuwanvu buweza ssentimitta 10 ng‘obuwaanvu bwalwo bukubisaamu obuwanvu bwa kanyonyi konna emirundi ebbiri. Buli ebimera ebito bulya ekitundu kyawaggulu ekyekimera ekito (shoot), ebikoola ebito ebito, emimuli, ebibala n‘ensigo. Butambulira mu bibinja bya bunyonyi 30 era busobola okwonoona ennimiro yonna.
Bwekweeka mumiti egiriraanyeewo oba ensuku era okwonoona kwabwo kusinga kuba kwabulabe mu kumulisa.
Ssemuffu (scaring device)
Tteeka ssemuffu mu birime ebimulisa atte obere nga obikyuusakyuusa buli kadde. Osobola okuleekaana oba okukola amaloboozi agenjawulo munniro kumakya ennyo okugoba ebinyonyi. Singa abalimi balimi mu kiseera kyekimu okukosa kwebinyonyi kujja kuba kutono eri amakungula. Bwoba n‘olusuku oba ebimera ebimulisa okwetoloola ennimiro y‘ebijanjaalo kiyamba okujja ebinyonyi kumulamwa g‘okulumba ebijanjaalo nebigenda eri olusuku nebimera ebimulisa.