Ekibabuko kisobola okusanyaawo amakungula n‘abwekityo kyansonga okuyiga okugema obulwadde buno.
Ekibabuko kisinga kwegiriisa kuntandikwa ya sizoni nekisasaanira ensigo, ebifo ebikosedwa kukirime, mu nkuba n‘emumazzi agafukirirwa. Bwokozesa ekika kyekirime kyekimu buli sizoni oba ogenda kufuna okulumbibwa obulwadde buno obwobulabe.
Ekibabuko kisobola okulumbagana, ekisambu olwo kisobola okulumba amakungula.
Ekibabuko
Ekirwadde kino kikosa ekirime nga kikyali mu nnassale ne munnimiro. Kyangu okukitegeera lwansonga nti ekirime ekikosedwa kikala ebikoola n‘ekisasaanira ekikola kyonna oluvannyuma n‘ekikala.
Bwoba okebera ekirime ekikoseddwa genda ngojjako ekikoola nga bwobisuula mu mikopo ekijjudde amazzi. Bwolaaba ebikoola bifulumiza oluzigozigo obwakitaka kino tekitegeeza nti ebirime byonna birwadde wabula osaana okumanya nti ekitundu kimu kyakubiri ekyennimiro kikoseddwa. Bwewesuula ennimiro akabanga kyangu okumanya ebirime ebikoseddwa.
Okwanganga obulwadde bwekibabuko
Okugema obulwadde buno osaana weyabise ensigo ennamu era ezisobola okulwanyisa endwadde. Oyin okugyamu omuddo n‘ebitundu byebirime ebisigadde ng‘omaze okukungula n‘obikungaanya oluvanyuma n‘obikolamu nakavundira.
Mumaaso eyo musizoni tosalako bikoola bikoseddwa kubanga kino kisobola okusasanya endwadde. Ebiriisa ebisirikitu nga zinc ne copper biyamba ekirime okukula obulungi n‘okugukira endwadde.
Amangu ddala ng‘ozudde ebikoola ebirwadde, osaana otabule kilo 40 ez‘obusa bwente obubisi mu liita 100 ezamazzi, zino zisobola okufuyira ekitundu kya yiika.
Byotabudde bireke byesengejje okumala essawa 24 olwo tabula obusa obusengejje oluvanyuma gattamu liita 100 ezamazzi. FFuyira okumala ennaku 15 buli lunaku emirundi esatu. Osobola no‘kweyambisa kilo ya pseudomonas talc mu liita 20 z‘amazzi bwoba oyina ekitundutundu kya yiika. Kozesa eddagala lino okumala ennaku 15 ngomaze okusimba.