Mu kukungula n’okusunsula omubisi, wax w’enjuki afunibwa ng’ebimu ku bivaamu era ng’asobola okusunsuliba okwongera ku magoba mu bizinensi y’okulunda enjuki.
Enjuki zikuuma omubisi gwazo guleme kutonnya mu biyumba by’embaawo nga zigubikkako wax. Mu kuwakula omubisi, omubisi gubikkulibwa nga wax w’enjuki abisse omubisi asalibwako. Okusunsula wax w’enjuki, sooka okenenule wax w’enjuki okumala essaawa 48 okuggyamu omubisi oguwerako mu wax w’enjuki.
Okusunsula wax w’enjuki
Ng’omaze okukenenula wax w’enjuki, bugumya wax w’enjuki mu sseppiki etudde mu ginnaayo (double boiler) okusaanuuka. Topapa kusaanuusa wax w’enjuki ng’omuteeka butereevu ku muliro. Ebibikka wax byonna tebijja kugya mu sseppiki omulundi gumu noolwekyo sooka oteekemu mutono ogattemu omulala ng’eyasooseewo asaanuuse.
Oluvannyuma lw’okusaanuusa wax w’enjuki, ddamu omukenenule omuteeke mu mukebe okusobola okumulongoosa era mulekeewo ekiro kiramba. Omubisi ogwayiseemu gubbira wansi ate wax w’enjuki akwatira waggulu w’omukebe.
Ng’okozesa esseppiki etudde mu ginnaayo, ddamu osaanuusa wax w’enjuki era oddemu omusengejje okukakasa nti wax w’enjuki muyonjo bulungi.
Yiwa wax w’enjuki omusaanuuse mu mikebe egy’ebikula eby’enjawulo. Wax ajja kwekwata mu bikula eby’emikebe mw’omuyiye.