Ng‘omaze okufuna emiti gya muwogo egitemeddwa, tulina okugireetera okufuna emitunsi nga tetunnagisimbuliza mu nnimiro. Okufuna emitunsi kusobola okukolebwa mu mmerezo oba mu buveera.
Okufunisa emitunsi ku miti gya muwogo mu kaveera kikola ku miti emigumu gyokka n‘egya wakati.Ekigendererwa ky‘okwaza kwa muwogo kwe kufuna emiti gya muwogo egy‘okusimba. Emiti gya muwogo egy‘okusimba giba gituuse okusimbibwa mu myezi mukaaga ku musanvu oluvannyuma lw‘okusimbuliza.
Okuleetera muwogo okufuna emitunsi
Okufunisa emiti emitunsi, londa ekifo ekifukiriddwa obulungi okusingira ddala kumpi n‘awava amazzi olambe obuwanvu n‘obugazi. Kakasa nti obugazi bw‘emmerezo bukusobozesa okutuuka wakati w‘emmerezo ku njuyi zonna.
Ng‘osimba emiti egitemmeddwa, wa ebbanga lya 10cm ku 10cm n‘obuwanvu bwa 1.5cm era girina okusimbibwa nga gyebase. Omuti gwa wakati gulina okusimbibwa nga guyimiridde ku buwanvu bwa kitundu kimu kya kusatu(1/3) eky‘obuwanvu bwagwo ate ogwa waggulu gulina okuba ebitundu bibiri byakusatu (2/3) ku buwanvu bwagwo.
Kungula endu ku buwanvu bwa mita era ozisibe mu bitundu ataano buli ttu. Emiti gisobola okuterekebwa mu wiiki munaana zokka. Mu kutereka weewali akasana akangi n‘empewo era okakase nti amaaso gatunula waggulu mu kutereka. Emiti gy‘okusimba girina okukungulwa ku miti emigimu gyokka.