Okwewala obutwa obuva ku kuwumba mu binnyebwa
Sooka osimbe ng’olekawo amabanga ga kipimo ekisaanidde,kungula ebirime byo nga wekigwanidde era obikaze bulungi ng’obikyusa mu nnimiro okumala ennaku ntono era oluvannyuma,kongolako ebinnyebwa mu busawo bwabyo era obikalize ku ttundubaali.Londamu ebinnyebwa ebikoseddwa era obitereke mu ka kutiya akakalu era nga kayonjo ,okakuumire wala okuva eri ebitonde ebibirya era tobikiriza kuddamu kutoba.
Mu kumaliriza,ebinnyebwa nga bikyali mu kisusunku,ddamu obironde era toliisa abantu oba ebisolo ebinnyebwa ebikoseddwa.