Obutwa obuyitibwa (Aflatoxins) buletebwa obukuku obusangibwa mu mmere era emmere weba teterekeddwa bulungi esobbola okuviirako ekibumba okwonooneka ne kokolo.Omutindo gusobola okuumibwa nga tukozesa enkola erimu okwanika,okwekebejja,okulongoosa n’okugezesa.
Mukusokera ddala ,empeke zikaze nga tonazitereka.Obuweweevu obulagibwa mu kutereka ensigo buba ku kipimo kya 12% oba okukka ate ku nsigo ezirina lubutto okugeza ng’ensiggo za soya,obuweweevu obulagirwa buli ku kipimo kya 10% oba okukka era oluvannyuma lw’okukaza,empeke ziteeke mu bukutiya ebutalina bituli era obusaanike bulungi busobole okuterekebwa.Eky’okubiri,wekebejje ekizimbe empeke wogenda ozitereka era ozibe buli katuli kolabye mu kizimbe.Kinno kiziyiza amazzi g’enkuba okutonnya mu nnyumba nga gayita mu kasolya n’ebitonde ebyonoona emmere y’empeke okuyingira.Era empeke eziteereddwa mu bukutiya togitereka wansi.
Obuyonjo n’omuddo oguteetagibwa
Longoosa ekiffo awaterekebwa era buli kiseera wekebejje wo ng’okyetoloola okukakkasa nti tewali muddo gummeze.Kinno kiziyiza ebuwuuka n’ebitonde ebyonoona emmere y’empeke okubeera mu kiffo ekyo.
Ekiffo awaterekeddwa empeke toteeka mu mikebe gy’eddagala erifuuyirwa erita ebiwuka,ebirongoosa ebikozesebwa,empeke ezirumiddwa obuwuka n’engoye.
Gezesa empeke buli kaseera okusobola okumalawo obuzibu obutono nga tebunafuuka bunnene.Kebera empeke zo oba zirimu obukuku,era obuweweevu oba bususe ogateko okunonnye obutuli oba awayulise n’obuwuka mu bukutiya bw’empeke.Ebukutiya webusangwa mu obuwuka obulya ensigo ,okufuuyirwa kuyinza okwetaagibwa okusinzira ku bukosefu obuwuka bwebuleese ku mpeke.