Okuliisa enkoko emere ey’omutindo kiyamba okwongera ku basirikale mu mubiri mu ngeri ya butonde, ku luuyi luli obutaba na nkola nambulukufu eyokuliisa enkoko naddala nga zikyali nto kiziretera okuba n’omubiri omunafu. Okugattako, okulumya obukoko obutto enjala mu naku ezisooka naddala nga bwakalulwa kireta enkula embi wamu nobutagejja, enkozesa y’emere embi okukwatibwa obulwadde wamu nokuba n’enyama entono. Ebiseera ebisinga, obukoko obwakalulwa bufuna emere okuva mu njuba , wabula owabulibwa okubuwa emere nga bwaluddwa.
Emigaso gy’okuliisa nga bukyali
Waliwo emigaso mingi egyetololera ku kuliisa obukoko obuto emere ey’omutindo ku mitendera egisooka nga bukula kuba kino kyongera ku nkozesa y’enjuba wamu nokwongera ku kukola omumiro ekireeta okwongera ku nkozesa y’ebiriisa okusobola okukula obulungi, okuzaala, wamu n’okukola amagoba. Okugattako, kiyambako n’okuzimba embeera y’obuviri mu mumiro okutta obuwuka bwa bacteria obwobulabe. Era okuliisa ebinyonyi nga bikyali kiyamba okwewala ekkabyo n’okukwatibwa endwadde mu binyonyi.