Omuceere okuva mu Africa guwooma naye ekigusuula ebeeyi gwe‘mutindo. Kirungi okwongera kumutindo gwo‘muceere okwongera kunnyingiza.
Africa esubuuza omuceere mungi ebweru ogutera okuba nga gwakungulwa ebbanga ddene emabega. Omuceere gugwa omutindo singa otabikatabika ebika by‘ensigo oba singa okungula ng‘obudde tebunatuuka oba amakungula ngagayiseeko. Abaguzi tebagala muceere gulimu mayinja, musenyu, oba ebintu ebirala mugwo. Nekirala omuceere gwonooneka bweguba gwanikiddwa bubi oba okuterekebwa obubi.
Omuceere ogw‘omutindo
Tosobola kusunsula bika bya muceere byanjawulo bulungi. Ebika ebyempeke entono tebijja kusunsulwa songa ogw‘empeke ennene gujja kutukakutuka, n‘olwekyo oyina okusimba buli kika bwakyo. Mumakungula, munsunsula n‘okutereka biyina okwawulibwa.
Omuceere bwegumala gaterekebwa nga tegukaze bwegusungulwa mu kyuma gufuuka buwunga songa bw‘okungula nga guyitiddwako gukutukakutuka. Oyina okungula mu wiiki ttaano ng‘ebirimba bisizza olwo ebirimba biba bifuuse ng‘ensekeseke mu langi oba bya kyenvu
Ebikyafu nga amayinja bigenda mu muceere mu kusunsula yensonga lwaki wetaaga okusunsulira wayonjo okugeza kutundubaali, obukutiya, ku sseeminti. Wewa empeke ekiseera ekiwerako ojjemu ensigo z‘omuddo zonna.
Yanika omuceere awantu awayonjo. Toyanikanga ku ttaka ejjerere oba mu luguudo kuba amayinja n‘obukyafu biyinza okwegatta mu muceere. Omuceere ogukaze ennyo gubaamu enjatika era gukutuka ngabagutadde mu kyuma. Yanika omuceere essaawa engere mumusana singa guba nga gwaaka nnyo. Olwo tandika okwanika mu kisikirize. Beera ng‘ogwanjala gusobole okukala gwonna. Okukakasa nti omuceere gwo gukaze bulungi lumako kumpeke ezimu, bwezivuga nga zibaluka olwo omanya nti omutendera gwo‘kwanika guwedde.
Omuceere bweguterekebwa ku ttaka gunnyukirira ne gukukula. Gutereke munsawo ozisimbe ku mbaawo enkalu. Toyanika wansi ob kubyuma ebitalazze. Beera ng‘oleka amabanga wakati wensawo zo okusobozesa empewo wamu n‘okuziyiza ebiwuka.