Okwongera omutindo gw‘amatta y‘enkola ey‘okwongera ku buwangaazi bw‘amatta n‘okwongera ku mutindo ekiviirako emiwendo gyago emirungi n‘ebyo ebbikolebwamu.
Amatta wegajjirwa mu ttanka yaago,olwo mu kkolero batandika okulongosa ebikozesebwa era gunno omutendera guyitibwa “ CIP“. Omutendera gunno gutandika lweggulo ng‘amatta teganatuuka era bakozesa eddagala ery‘enjawulo mu ku kuuma obuyojjo okusobola okwetegekera olunaku oludako.
Omutendera gw‘okulongosa amatta.
Okulongosa ebikozesabwa kuddibwamu olunaku oludako. ku saawa kumi nabbiri ez‘okumakya,okwogerwako omutindo ku matta kuba kutuuse.. Kakasa nti ebbugumu eriri mu motoka okutikibwa amatta telisuka diguli 5( 5 degrees) . Womala, amatta gekebejebbwa ebintu ebyenjawulo okuli obungi bw‘ebirungo ebigejesa . Ebbugumu likeberwa omulundi ogusemba era amatta bagajja ku motoka negateekebwa mu ttanka ezitambuza amatta.
Olwo gafumbibwako nga bakozesa ebbugumu eggere era olumala gatwalibwa mu kyuma ekikendeeza amasavu agabeera kungulu. Olumala , amatta era gadamu okufumbibwako negaterwa mwebagasitulira okumala edakiika ttaano okusobola okufuna ebbugumu erisaanidde .
Mukwongera ko,amatta wegamala ofuna ebbugumu eryetaagibwa,odamu n‘ogaza mu kyuma ekifumba era nogasa mu ttanka mwegasitulwa era wanno gaba gatuuse okujjuzibwa.
Okutereka amatta
Obucupa bukunganyizibwa okuva mu tterekero ,bulambibwa, era nebujjuzibwa. Amatta gatikibwa mu kuleti yaago era wanno gaba gatuuse okutambuzibwa. Olumala gateekebwa mu bucupa obw‘enjawulo era negateekebwa mu bbugumu eryekigero okumala esaawa 12 . Olumala gakeberwako okusobola okukakasa nti gali kyekimu.Mukumaliriza gakebererwa negatwalibwa mu kyuma ekinnyogoza okumala esaawa ttano ku mukaaga olwo negalyoka gaterekebwa.