Omusujja gw‘ebisolo ogugyamu embuto bulwadde bwamaanyi obuleetebwa akawuka akayitibwa brucella abortus.
Omusujja gw‘ebisolo guno gulagibwa n‘okugyamu embuto mu bisolo naye kino kiri ku mbuto ezisooka wabula embuto ziddako tezivaamu. Obulwadde buno busobola okukwata abantu nga buyita mu kunywa amata agava mu bisolo agatalongoseddwa oba okukwata ku mazzi oba ebintu ebiggiddwa mu nte erina obulwadde buno ng‘ogezaako okugiyamba okuzaala.
Obubonero bw‘omusujja gw‘ebisolo ogugyamu embuto
Akabonero Akenkukunala ak‘omusujja guno kwekugyamu embuto naddala okuva ku lubuto olwemyezi etaano kutuuka ku myezi mukaaga. Obubonero obulala mulimu ekitanyi obutafuluma,okuzimba kwanabaana n‘obugumba mu nte.
Mu nnume kirabibwa mu kuzimba kw‘emu oba ensigo zombi, okuzimba ku lumu kunseke ezisangibwa emabega w‘ensigo era ensolo ezibeera zirwadde ekirwadde ekyerugenderezo sisobola okulaga In bulls, it manifests as orchitis, epididymitis and chronically infecteokuzimba kw‘ensigo.
Engeri y‘okuziyiza omusujja gw‘ebisolo ogugyamu embuto
Ekibi ennyo, ekirwadde kino tekirina kikiwonya era okuziyiza kuyita mu mu kugema nga tweyambisa eddagala lya S 19 or Albi 51 naye togema nnume n‘ente eziri eggwako kubanga okugema kuyinza okuleeta obugumba mu nnume n‘okuvaamu embuto mu nte eziri egwako. Eddagala eryo lyombi waggulu lireeta omusujja ogugyamu embuto mu bantu n‘olwekyo olina okufuna obujjanjabi bw‘omusawo singa mu butanywa wekuba empiso erimu eddagala erigema.
Enteekateeka y‘okugema
Weyambise eddagala lya Albi 51, tandika nakugema nnyana ezitanazaalako eziri wakati we myezi ena ne kkumi ngozikuba 2 ml ezeddagala erigema. Ddamu okuzigema ddoozi ejjudde nga ziwezeza wakati wemyezi kkumi n‘ebiri ne kkumi n‘omukaaga egy‘obukulu .
Ente enkulu ezitali ggwako ziyinza okugemebwa nga zikubibwa 2ml ezeddagala erigema.
Ddoozi y‘ekirungo kya busita ekyabuli mwaka kisoboka okuziweebwa singa waliwo obwetaavu naye nga si kyateeka. Singa oba n‘okugibwamu embuto ku faamu yo, bulijjo webuuze ku musaawo w‘ebisolo era naawe oyambale engoye ezikugirwa okukwatibwa nga tonakwata kukyana kigiddwamu.