Abalimi bangi mu Afirika tebasobola kufuna nsigo y’engano ekozesebwa nga balimira emmere y’ebisolo mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa. Leero twandyagadde okukulaga ezimu ku nsigo zosobola okukozesa mu kusimba emmere y’ebisolo erimibwa mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa atenga ebisolo bigyetaaga.
Ebisolo ebisinga naddala birina omuwendo gw’ekiriisa ekizimba omubiri n’ekipimo ky’ekiriisa ekizimba omubiri bye byetaaga ekiri wakati w’ebitundu 15 ne 25 ku kikumi. Kino nga ky’ekipimo ekirambikiddwa era tukimanyi nti singa kikendera okutuuka ku bitundu 15 ku kikumi awo ojja kufuna amakungula matono n’okuwa ensolo zo okusinga ebitundu 25 ku kikumi era ojja kufuna amakungula matono. Ekiriisa ekizimba omubiri bw’ekisukka tekinyikira mu mubiri wabula kifukibwa mu musulo.
Ensigo ez’enjawulo
Ku nsigo zetulina wano, soya alimu ekiriisa ekizimba omubiri kingi nnyo ng’aweza ebitundu 45 ku kikumi okusinzira ku bubaka bwetwakakunganya okuva mu labalatole. Ensigo za barley oluvanyuma lw’okuzisimba mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa eby’enjawulo zirina omuwendo gw’ekiriisa ekizimba omubiri kya bitundu 23 ku kikumi.
Engano erina ebitundu 19 ku kikumi, oats alina 21 ku kikumi, omuwemba gulina 12 ku kikumi, kasooli alina 6 ku kikumi n’obulo 11 ku kikumi eby’omuwendo gw’ekiriisa ekizimba omubiri. Kisingako okubeera n’eby’okulondako eby’enjawulo.
Okukozesa enkola eyitibwa pearson square.
Nsigo kika ki z’ensobola okukozesa mu kulimira emmere mu mazzi agatabuddwa ebiriisa?
Era n’engeri gy’osobola okukozesa enkola eyitibwa pearson square okutabula ensigo ebbiri okusobola okuggyayo ky’oyagala. Kijja kukwetaagisa okusooka okusimba ensigo ng’ozawudde.
Okubala nga weyambisa enkola ya pearson square kukolebwa nga weyambisa ennamba esinga obunene ku layini eyekisemu okusobola okufunamu ebiyitibwa ebitundu.