»Enteekateeka mukusimba omuceere«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/land-preparation-rice

Ebbanga: 

00:10:22

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2016

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Africa Rice, Agro- insight, Country wise communication, INERA
»Engeri y‘okuteekateeka ettaka nokukuuma amazzi bye biyamba kunkula yekirime, okwanganga omuddo namakungula g‘omuceere munnimiro.N‘ensonga lwaki ennimiro esaana okuseeteezebwa, okukozesa obulungi ebigimusa. Mukatambi kano osobola okufuna ekyokuddamu kyebibuuzo byo. Akatambi kano kitundu ku Rice Advice DVD«

Okuteekateka n‘okuseeteza ettaka emirundi n‘emirundi kiyamba ennimiro yo okuba ennungi ate ngannamu. kino kijja kwongera kumakungula.

Munnimiro ezitaseeteeddwa bulungi, omuddo gulabika mubitundu ebyamakungula era wano olina okulinda ennyo ebitundu ebyawansi nga tonnatandika nakusimbuliza. Ensigo ezasooka zimulisa bubi amakungula negakka. Munnimiro etali nseeteeze ebigimusa bituula bifo ebisse ensigo n‘etatagimuka bulungi. Ensigo eziri ewagulumidde zengera mangu bwogerageranya neezo eziri mubikko.

Okuteekateeka ennimiro y‘omuceere

Ettaka etteeketeeke obulungi liba nsesebefu ekiriyamba okunywa amazzi bwoba olifukiridde. Linywa mubwangu ekigimusa. N‘ekirala nti bwofukirira amzzi gasasaana bulungi munnimiro enseeteeze. Longoosa ennimiro oteme obuddo butono n‘ebisigalira byebirime. Oluvanyuma obisasaanye munnimiro. Okugonza ettaka, liyiire amazzi emirundi, munnaku bbiri ku sattu. kola olukabala olusooka mu wiiki ntono nga tonnasimba oba okusimbuliza. Kisobzese omuddo n‘ebisigalira by‘ennimiro okvunda. Kabala n‘enkumbi, powe tiller oba animal-drawn plough.

Bino bikyusa ebisigalira okuvunda nokumementula ettaka.

Yiira amazzi ennimiro etundutundu lya sentimita bbiri okumala wiiki bbiri ku ssatu. Kino kijja kutta ebiwuka, ate kivunse n‘ebisigalira byebirime. Kino kiletera omuddo okumulisa oba okuvunda. Oluvanyuma lwokuyiira ennimiro, amazzi osaana ogattemu ekigimusa ekizungu oba nakavundira. Nakavundira osobola okuba obusa bwensolo esirundwa ewaka owebirime. Bwokozesa nakavundira weeyambisa ebigimusa ebizungu.

Kuluteekateeka olw‘okubiri okyusakyusa ettaka tta omuddo omanse n‘ebirisa.

kabala okke ssentimita 10 ku 15. Bwokabala ekitono ebirime byo tebijja kukula bulungi. Naye bwokabala ennyo ebigimusa bikka wansi mu mirandira gyebirime.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:41Intro
00:4200:59Okuteekateeka n‘okuseeteeza ennimiro.
01:0001:56Ettaka etteeketeeke obulungi liyitamu mangu amazzi n‘eritoba ngolifukiridde.
01:5702:50Munnimiro etali nteeketeeke omuddo mugi gulabika mubitundu ebigulumivu era oyina okulinda nga tonnasimbuliza ebitundu ebiri mubikko.
02:5103:21Munnimiro etenkanankana ebigimusa bigenda nnyo mubifo ebisse omuceere negutakula kimu.
03:2204:52Yonja ennimiro oteme omuddo omutono nebisigalira byebirime.
04:5305:14Mementula ebifunfugu amazzi gakke bulungi muttaka.
05:2505:31Kabala okusooka mu wiiki ntono emabega nga tonasiga oba okusimbuliza, olwo muddo n‘ebisigalira by‘ebirime bivunda.
05:3205:49Yiira ennimiro amazzi okumala wiiki bbiri ku ssatu.
05:5005:53Leka omuddo gumulise oba guvunde.
05:5406:51Bwomala okuyira amazzi, tekamu ekigimusa ekizungu oba nakavundira.
06:5207:23Kuluteekateeka olwokubiri, kyusakyusa ettaka, otte omuddo osasaanye nebiriisa.
07:2408:55Sseteeza ennimiro.
08:5609:53Okuwumbawumba
09:5410:22Okusiima

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *