Okuteekateka n‘okuseeteza ettaka emirundi n‘emirundi kiyamba ennimiro yo okuba ennungi ate ngannamu. kino kijja kwongera kumakungula.
Munnimiro ezitaseeteeddwa bulungi, omuddo gulabika mubitundu ebyamakungula era wano olina okulinda ennyo ebitundu ebyawansi nga tonnatandika nakusimbuliza. Ensigo ezasooka zimulisa bubi amakungula negakka. Munnimiro etali nseeteeze ebigimusa bituula bifo ebisse ensigo n‘etatagimuka bulungi. Ensigo eziri ewagulumidde zengera mangu bwogerageranya neezo eziri mubikko.
Okuteekateeka ennimiro y‘omuceere
Ettaka etteeketeeke obulungi liba nsesebefu ekiriyamba okunywa amazzi bwoba olifukiridde. Linywa mubwangu ekigimusa. N‘ekirala nti bwofukirira amzzi gasasaana bulungi munnimiro enseeteeze. Longoosa ennimiro oteme obuddo butono n‘ebisigalira byebirime. Oluvanyuma obisasaanye munnimiro. Okugonza ettaka, liyiire amazzi emirundi, munnaku bbiri ku sattu. kola olukabala olusooka mu wiiki ntono nga tonnasimba oba okusimbuliza. Kisobzese omuddo n‘ebisigalira by‘ennimiro okvunda. Kabala n‘enkumbi, powe tiller oba animal-drawn plough.
Bino bikyusa ebisigalira okuvunda nokumementula ettaka.
Yiira amazzi ennimiro etundutundu lya sentimita bbiri okumala wiiki bbiri ku ssatu. Kino kijja kutta ebiwuka, ate kivunse n‘ebisigalira byebirime. Kino kiletera omuddo okumulisa oba okuvunda. Oluvanyuma lwokuyiira ennimiro, amazzi osaana ogattemu ekigimusa ekizungu oba nakavundira. Nakavundira osobola okuba obusa bwensolo esirundwa ewaka owebirime. Bwokozesa nakavundira weeyambisa ebigimusa ebizungu.
Kuluteekateeka olw‘okubiri okyusakyusa ettaka tta omuddo omanse n‘ebirisa.
kabala okke ssentimita 10 ku 15. Bwokabala ekitono ebirime byo tebijja kukula bulungi. Naye bwokabala ennyo ebigimusa bikka wansi mu mirandira gyebirime.