»Entekateeka y‘ettaka mukulima soya.«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=gMOf8uuTLkI

Ebbanga: 

00:05:15

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2018

Ensibuko / Omuwandiisi: 

CABI
»This series of videos was commissioned by CABI as part of the Africa Soil Health Consortium (ASHC) in association with the Gender And the Legume Alliance (GALA) project. They were screened in rural agricultural communities across northern Ghana to inform families of best practice in soybean production. As of March 2018, an estimated 29,555 people attended these screenings with significant female participation«

Okusinzira nti soya alimu ekiriisa ekizimba omubiri ekyamannyi, soya akungulwa nga mungi asinzira ku ntekateeka ennungi ezikolebwa mukumulima.

Soya alimibwa ku ttaka nga ggazzi era nga ddungi ,eriterweddwamu ebigimusa nga bingi era nga ebigimusa binno birina okuba nga bikabaddwa bulungi muttaka.

Ebigimusa binno biyamba mukugimusa ettaka obulungi era nga ettaka linno lisobola okukuuma amazzi.

Ettaka erisemba wansi n‘eryolusennyusenyu likala mangu . Soya asaanga obuzibu okulira mu ttaka eryanguwa okwekwatta.

Okuteekateeka ettaka.

Okuteekateeka ettaka obulungi kiyamba mukukula obulungi, kikeendeza ku kulumbibwa omuddo, obuwuka n‘obulwadde.

Gezesa ettaka osobole okumannya obugimu bwalyo okusobola okuzuula ebirungo ebibulamu bisobole okwongerwa mu ttaka.

Okulima ettaka kuyamba mukujjamu omuddo, n‘okuwewusa ettaka, kinno kiyamba mukusiga amaangu. Toyokya nga ebisigalira kubanga ettaka lisigala lyerere olwo ettaka eddungi lyerwako ekivirako amakungula okukendera n‘ebirungo ebirungi muttaka okwononebwa.

Longoosa ettaka libeere nga lisobolwa okusimbibwamu.

Ttema ebimererezi byonna nga okozesa enkumbi ,oba tractor era olime omuddo omutonno gwonna mu nnimiro okusobola okwongera ku mutindo gw‘ebigimusa mu ttaka. Era weyambise eddagala eritta omuddo okugutta nga tonakabala .

Sigga mu kiffo ekiseeteevu oba ku bugulumu mu nnimiro ezirimu amazzi amangi.

Era longoosa ekiffo ekiriraanye ennimiro kubanga biyinza okusikiriiza ebitonde ebyonoonaa emmere.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:52Soya asimbibwa ku ttaka eddungu eriterwaddwamu ebigimusa.
00:5301:00Ebigimusa biyamba mukugimusa ettaka eryawansi.
01:0101:20Wewale ettaka ly‘olusennyusennyu n‘erisemba wansi n‘eryo erikaluba amangu.
01:2101:46Simba mu kiffo ekiseeteevu oba ku bugulumu munnimiro ezirimu amazzi amangi.
01:4704:11Gezesa ettaka osobole okumannya obugimu bwalyo,lima ettaka era longoosa ettaka libeere nga lisobolwa okusimbibwamu.
04:1204:44Ttema ebimererezi byonna ,osige mu kiffo ekiseeteevu oba ku bugulumu munnimiro ezirimu amazzi amangi.
04:4504:53Era longoosa ekiffo ekiriraanye ennimiro kubanga biyinza okusikiriiza ebitonde ebyonoonaa emmere.
04:4405:15Obufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *