Okusinzira nti soya alimu ekiriisa ekizimba omubiri ekyamannyi, soya akungulwa nga mungi asinzira ku ntekateeka ennungi ezikolebwa mukumulima.
Soya alimibwa ku ttaka nga ggazzi era nga ddungi ,eriterweddwamu ebigimusa nga bingi era nga ebigimusa binno birina okuba nga bikabaddwa bulungi muttaka.
Ebigimusa binno biyamba mukugimusa ettaka obulungi era nga ettaka linno lisobola okukuuma amazzi.
Ettaka erisemba wansi n‘eryolusennyusenyu likala mangu . Soya asaanga obuzibu okulira mu ttaka eryanguwa okwekwatta.
Okuteekateeka ettaka.
Okuteekateeka ettaka obulungi kiyamba mukukula obulungi, kikeendeza ku kulumbibwa omuddo, obuwuka n‘obulwadde.
Gezesa ettaka osobole okumannya obugimu bwalyo okusobola okuzuula ebirungo ebibulamu bisobole okwongerwa mu ttaka.
Okulima ettaka kuyamba mukujjamu omuddo, n‘okuwewusa ettaka, kinno kiyamba mukusiga amaangu. Toyokya nga ebisigalira kubanga ettaka lisigala lyerere olwo ettaka eddungi lyerwako ekivirako amakungula okukendera n‘ebirungo ebirungi muttaka okwononebwa.
Longoosa ettaka libeere nga lisobolwa okusimbibwamu.
Ttema ebimererezi byonna nga okozesa enkumbi ,oba tractor era olime omuddo omutonno gwonna mu nnimiro okusobola okwongera ku mutindo gw‘ebigimusa mu ttaka. Era weyambise eddagala eritta omuddo okugutta nga tonakabala .
Sigga mu kiffo ekiseeteevu oba ku bugulumu mu nnimiro ezirimu amazzi amangi.
Era longoosa ekiffo ekiriraanye ennimiro kubanga biyinza okusikiriiza ebitonde ebyonoonaa emmere.