Okuba namakungula amalungi kyamugaso okumanya butya bwoyinza okutaasa kasooli okuva eri obutwa buno nga omazze okungula.
Kasooli akazidwa naterekebwa asobola okukula. Obukuku buno busobola okuvaamu obutwa aflatoxins. Aflatoxins akosa obulamu bwaffe n‘olwekyo abantu n‘ebisolo tebasaana mpeke zikoseddwa. Bwoliisa ensolo kasooli akukude, obutwa buggwera mumata, mu magi ne munnyama era busobola n‘okuggwera mu bantu.
Kasooli akukudde
Bwosusa kasooli nga takaze bulungi, kasooli yeveera era obunyogovu busobola omukosa. Kasooli bwaba munyogovu kyanguwa okulumbibwa aflatoxin, eyo yensonga lwaki kyamugaso nnyo, okukaza kasooli akunguddwa obulungi ennyo nga tanaterekebwa. Newankubadde ng‘otereka, obukuku busobola okubeera wansi era nebukosa. Osobolakebera kasooli okakasa oba alina obukuku.
Okukaza n‘okutereka kasooli
Kasooli akyusiza enfaanana mwawule ng‘okungula. Bwekiba nga kitundu mu kasoolikyekikoseddwa, sanyawo ekitundu ekyo.
Bwosusa kasooli mutaase okuva eri okubibwa enkuba, n‘olwekyo yalilira ettundubaali eriyonjo, omukeeka oba ekitandaalo kwoyanika kasooli, mulekeeyo okumala sabitti nga ziizo. Kyusiriza kasooli era mubike ekiro. Empeke bwezitandika okuva kukikongoliro, manya nti kasooli akaze bulungi.
Okukakasa nti buli mpeke ekaze yiwa empeke kutundubaali nate. Kkasa nti bwo mwalirira tasukka buwanvu bwa kitundu kyalugalo. Mulekeyo okumala ennaku engere (entonotono).
Mukiseera kino, osobola okukyusa kasooli buli luvannyuma lwassawa. Beera mwegendereza nti kumutendera guno kasooli tatoba.
Bwoba oyagala okakasa nti kasooli atusiza okuterekebwa, osobola kebeza enkola eya „Omunnyu ne ccupa“. Kasooli bwaba akazze mutereke mukifo ekiyonjo ekitayitamu mpewo ate nga tatuziddwa ku ttaka.