Muwogo tayala nnyo , naye okumwaza kiyamba okwongera ku muwendo gwe n‘amakungula ga muwogo okutwaliza awamu.
Okwaza kwe kwongera ku bungi bw‘emiti gya muwogo egisimbibwa okusinga ku egyo egisimbiddwa. Okwaza mu muwogo kwe kutema emiti gya muwogo. Emiti gya muwogo gy‘emiti emitonotono nga buli gumu gulina eriiso limu oba okusingawo okusinziira ku muti gwe gitemeddwa. Mu kutema, ebikozesebwa ebyogi birina okukozesebwa era muno mulimu omusumeeni, cutlas, shear, chainsaw, handsaw oba secateur.
Emiti gya muwogo emiteme
Endu ya muwogo egabanyizibwamu ebitundu bisatu kwe kugamba ekyawansi ekikaluba, ekyawakati n‘ekyawaggulu. Ebisaliddwa eby‘omuti ogukaluba birina okuba n‘eriiso limu oba abiri, ago agava ku kitundu kya wakati galiba okuba lwakiri n‘obuwanvu bwa fuuti ate ku kya waggulu, salako ebikoola byonna naye faayo nnyo obutakosa maaso era emitunsi giteerewo mu mazzi okugyewaza okufiirwa amazzi.
Obungi bw‘emiti okuva ku ndu emu businziira ku buwanvu bw‘eriiso, obugazi bw‘endu, obukulu bwa muwogo n‘embeera y‘obudde mu kusimba n‘oluvannyuma lw‘okusimba. Emiti 60 ku 100 gye gisobola okufunibwa ku ndu emu.
Okujjanjaba endu
Nga tonnasimba, jjanjaba emiti gya muwogo egitemeddwa n‘eddagala eritta ebiwuka. Kino kikole ng‘onnyika emiti egyo mu ddagala era ogireke gikalemu nga tonnagisimba.